Amawulire

Sipiiika atabukidde ababaka abeebulankanya.

Sipiika wa palamenti Anita Among avuddemu omwasi ku ba minisita n’ababaka ba palamenti abatakiika mu palamenti n’agamba nti abantu ekika kino bebali b’engunzi abasokerwako.

Mu bubaka bwe eri palamenti olwa leero, Among asoose kwebuuza lwaki ababaka ba lubatu nga ne minisita wabaddewo omu yekka, David Bahati (Minisita omubeezi ow’amakolero) kyokka nga babategeezza mu budde nti leero bakutuula ssaawa nnya ez’okumakya.

Agambye nti ku ba minsita 83 kyenyamiza okuba nga waliwo omu yekka, nga ku babaka 556 abaliwo tebawera yadde 100 nga n’ekyenyamiza abasinga bajja kikereezi.

Among agambye nti nga ba minisita n’ababaka basasulwa ensimbi z’omuwi w’omusolo nyingi ddala nga bwebebulakanya okuza okuwereza eggwanga ate nga basasulwa kyeraga lwatu nti obwo bukumpanya

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top