Amawulire

Sipiika agobye bakansala.

 

Sipiika wa district y’e Kayunga, Bulisoni Saleh agobye bakansala abakeera ku kitebe kya district okutayaaya n’abalagira babeere mu magombolola bawulirize ebizibu eburuma abantu abaabalonda.

Kigambibwa nti abamu bagendayo kusabiriza ssente .

Agambye nti kkansala ateekeddwa kujja ku district nga waliwo olukiiko oba nga alina ensonga wabula ssi kya buli lunaku  nga abamu bwe bakola.

Bulinsoni abawadde amagezi nti mu kifo ky’okutambuza olugambo beenyigire mu mirimu egivamu ssente bakyuse ku meera y’obulamu bwabwe  kubanga n’abo a baleeta ssente bakola nkole.

Bbo bakansala bagamba  nti buvunaanyizibwa bwabwe okulondoola abakozi bye bakola era eky’okubakugira kibalowoozesa nti waliwo bye bakukusa bye bataagala bategeere.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top