Amawulire

Sipiika Among atabukidde abantu aboogerera abaagalana.

 

Sipiika wa palamenti ya Uganda, Annet Anita Among atabukidde aboogerera  emikolo gya  kyabazinga wa  Busoga William Wilberforce Gabula Nadiope (IV) okukikomya  ku banga si be basalawo ku muwendo gw’abakazi omusajja balina okuwasa.

Among bw’abadde akubirizza palamenti agambye nti ,abantu bangi naddala ku mikutu migatta bantu bagufudde muze okwogera kalebule ku nsonga ezitabakwatako naye nga tamanyi gyebaggya busungu okulwanyisa enteekateeka za bantu abalala okuggyako obutayagaliza obubajudde

Abasabye okwesonyiwa ensonga zonna ezikwata ku mbaga ya Kyabazinga kubanga alina obuwagizi bwa bwa gavumenti era nakakasa nti egenda kubeerayo oba baagala oba tebagala .

Kyabazinga Nadiope wakukuba omwagalwa we Inebantu Jovia Mutesi embaga  ku Lwomukaaga lwa wiiki eno  wabweru wa Lutikko ya Christ’s Cathedral  Bugembe era abagenyi bangi  abasuubirwa okwetaba ku mukolo guno omuli n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top