Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among asuubizza okukyaza abantu ab’enjawulo okwongera okunnyonnyola Bannayuganda abakyakalambidde ku nsonga y’amayirungi ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala.
Okwogera bino, kiddiridde Palamenti okuyisa etteeka lya Narcotic and Psychotropic Substances (contoll ) Bill, 2023 erikugira abalimi, abatunzi, abalya n’abatambuza amayirungi okuddamu okugenda mu maaso nga babikola era ebibonerezo eby’enjawulo ne biteekebwawo eri abanaawalaza empaka.
Among bw’abadde akubiriza olutuula lwa leero asiimye omuyimbi Jackie Chandiru olw’okuba n’obuvumu obuvumirira ebiragala ebyamukomya ku mugo gw’entaana ky’agamba nti kyamuwendo nnyo kubanga kiba kiwa eky’okuyiga ababikozesa.
Asuubizza okumukyaza mu Palamenti mu butongole okubeerako ensonga zaatangaaza ezeekuusa ku biragalalagala era ne yeeyama okukolagana naye okwongera okubirwanyisa mu ggwanga.