Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimye n’akola enkyukakyuka mu bukulembezze bwe.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naakola enkyukakyuka mu baminisita be awamu n’Olukiiko olufuzi olw’ekitongole ki Buganda Land Board (BLB).

Enkyukakyuka zino zirangiriddwa mu kiwandiiko ekiweerezeddwa eri bannamawulire olwaleero ku Lwokubiri nga kiriko omukono gwa Mukuumaddamula Owek. Charles Peter Mayiga.

Okusinziira ku kiwandiiko kino, Katikkiro asigadde ye Owek. Charles Peter Mayiga era alina abamyuka babiri okuli Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ate Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro ye, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, ye Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ng’ono amyukibwa Owek. Ahmed Lwasa.

Mu nkyukakyuka zino Beene awummuza Owek. Henry Moses Ssekabembe abadde minisita w’Abavubuka n’Ebyemizannyo, Owek.Dr. Prosperous Nankindu Kavuma abadde minisita w’ebyobulamu n’ebyenjigiriza  era nakkiriza abadde minisita w’ebyobulambuzi n’obuwangwa Owek. Kyewalabye Male awummule olw’okubeera omukosefu.

Omutanda era alonze Owek.Robert Sserwanga okubeera minisita w’ Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone ate  abadde Ssenkulu wa Buganda Royal Institute, Anthony Wamala nalondebwa okubeera minisita w’ Ebyobulambuzi, Ennono n’Obuwangwa ate omulala agudde ye Owek. Cotilda Kikomeko Nakate.

Nnyinimu era alonze Israel Kazibwe ng’ omwogezi w’Obwakabaka era minisita w’ensonga z’Amawulire nadda mu bigere bya Owek. Noah Kiyimba atwaliddwa mu minisitule ya Kabineeti n’ensonga z’Olukiiko.

Owek. Daudi Mpanga alondeddwa okubeera minisita w’ettaka so nga mu kiwandiiko kino era Beene aliko baminisita ababadde ababeezi bayimusizza nafuula abajjuvu okukulira minisitule ez’enjawulo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top