Ssaabawolereza wa Uganda, Kiryowa Kiwanuka ategeezezza nti gavumenti terina bifo byekusifu mwetulugunyiza bantu era eno si nkola ya gavumenti mwawerereza.
Kiwanuka bino abyogeredde mu kakiiko k’ekibiina kya mawanga amagatte akabuuliriza ku kulinyirira eddembe ly’obuntu n’okutulugunya abantu oluyindira e Geneva mu Switzerland.
Akakiiko kano katandika okunoonyereza ku nsonga zino nga October 31 era nga kekeneenya amaanyi gavumenti ya Uganda awamu n’ensi endala ttaano gegataddemu okulwanyisa okutulugunya bannansi wamu n’okulinyirira eddembe lyabwe.
Kino kiddiridde Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi okusaba ebitongola n’amawanga g’ebweru omuli ne UN okubaako kyebakola ku kuwamba abawagizi be awamu n’okubatulugunya ebikolebwa gavumenti.
Bw’abadde alabiseeko eri akakiiko k’amawanga amagatte awolerezza gavumenti nga bwetalina buduukulu mwetulugunyiza bantu wadde okubasibira.
“ Gavumenti yaffe terina buduukulu buno oba ebifo ebitali mu mateeka mwetulugunyiza abantu. Bwetukomawo wamu enkya ngenda kubawa alipoota eyakolebwa ababaka ba Palamenti oluvannyuma lw’okulambula ebifo bino ebyogerwako kuba tewali kyebazuula,” Kiwanuka bw’ agambye.
Kiryowa Kiwanuka agamba nti ebikolwa by’okutulugunya abantu bwebibeera nga kituufu bikolebwa, bya bantu Ssekinoomu era bakola ku lwabwe so si kulwa gavumenti.
Munnamateeka Kiwanuka akakasizza akakiiko kano nga gavumenti ya Uganda bweri eneetegefu okulaba nti ebikolwa by’okutulugunya abantu biggwawo mu ggwanga era abo abakola ebikolwa bino bakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Bino webijjidde nga abakulembeze ba NUP bakyagenda mu maaso okulumiriza gavumenti nga bwewamba abawagizi babwe awamu n’okubatulugunya nga bangi basibiddwa mu bifo ebitamanyiddwa.