Ebyobufuzi

Onjagaza ki nkikuwe nkikuwe *Ssabaminista atabukidde omubaka Ssemujju Nganda

Onjagaza ki nkikuwe nkikuwe Ssabaminista atabukidde Ssemujju Nganda

Ssabaminista atabukidde omubaka Ssemujju Nganda. Ssabaminista wa Uganda Robinah Nabbanja Musafiiri avudde mumbeera n’atabukira omubaka wa monicipaali ye Kira mu palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda, n’amutegeeza bwaba alina kye yamukola akimutegeeze mu lujjudde lwa palamenti akimuwe okusinga okumuwalampira n’okumwogerera ng’ayita mu  mawulire.

Nabbanja eyabadde omukawu yasinzidde mu palamenti n’ategeeza omumyuuka wa spiika Anite Amongi nti, okuva Pulezidenti Museveni lwe yamulonda kubwa Ssabaminista, omubaka Ssemujju azze amwogerera amafuukule n’okumulengezza mulujjudde nga bwatagwanira kifo ky’abwa ssabaminista, bwatyo (Nabbanja) n’amusaba ategeeze palamenti ky’ayagala okumuwa akimuwe mu lujjudde lwa palamenti amuveeko.

Okuva pulezidenti Museveni bwe yalangirira   Nabbanja nga Ssabaminista wa Uganda, ne baminista abalala nategeeza bwe ye yalonze abavubi, ye basuubira nti bajja kuwereza bulungi abantu,  omubaka Ssemujju azze abakubamu ebituli n’ategeeza  abamawulire nti,” Pulezidenti Museveni yakola ensobi okulonda  Nabbanja nga Ssabaminista, n’amugerageranya ng’omuntu atasobola nakukulira kampuni eyoola Kasasira ku kyalo.

Nabbanja yategezezza omumyuuka wa spiika n’abakadde ba palamenti nga Ssemujju bwayitirizza okumuwalampa, era n’amusaba okukikomya.

Bino  byonna okubaawo kyavudde kubamu kubaminista abavunanyizibwa kubitongole ebyenjawulo okwebulankanya ne batabeera mu palamenti naddala nga waliwo ensonga enkulu mu gwanga ze babeera balina okutangaza n’okunnyonnyola eggwanga nga bayita mu palamenti omuli n’abebijambiya ebisusse ennyo mu gwanga, kyokka nga tebalabikako. Omubaka Ssemujju yasinzidde mu palamenti n’ategeeza nga Ssabaminista bwalina okukubiriza ba minista okubeera mu palamenti okusobola okuddamu ensonga enkulu eziruma bannansi, ate Naye okubeerayo.

Ono yalumbye Nabbanja n’amulangira obutatuuka mu budde mu palamenti nga waliwo ensonga enkulu ezitesebwako kyokka ng’ate alina okubeerayo kulwa gavumenti, kyokka ebiseera ebisinga atuuka mu palamenti ng’ensonga enkulu ziwedde, ekintu ye kwasinziira n’ategeeza nga bwe yali tagwanira kifo ekyo kuba obuvunanyizibwa bumulemye okutuukiriza.

Omumyuuka wa Spiika yasabye Ssabaminista n’omubaka Ssemujju okukwatagana okukomya okunenengana, wabula okukolera awamu okusobola okuwereza obulungi bannayuganda.

Ababaka bangi bazze bawulirwa nga bemulugunya kubaminista abavubi pulezidenti Museveni be yalonda nga bwe bayitirizza okwebulankanya, wabula ebiseera ebimu Ssabaminista ng’abawolereza nga bonna bwe batalina kubeera mu palamenti, okusobola okwewala omujjuzo n’okukuuma abateeka g’ekitongole ky’ebyobulamu okusobola okutangira ekirwadde Kya covid-19.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top