Ebyobufuzi

Ssegiriinya ne Ssewanyana baziddwayo ku alimanda e Kigo

Omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa bakalintalo n’abatujju e Kololo, Elizabeth Alividza asindise ababaka Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West ku alimanda mu kkomera e Kigo okutuuka nga September 1, 2022 lwebanakomawo mu kkooti eno.

Omulamuzi Alividza asoose kuwulira musango guno era  wano omuwaabi wa gavumenti,  Agunzu Olino ategeezezza kkooti nga bwebamaze okukung’aanya obujulizi bw’ abantu 19 okuwa obujulizi ku babaka bano n’abantu abalala 5 ku ttemu eryali e Masaka.

Okusinziira ku Olino ategese abajulizi abawerera ddala 19 okusobola okulumiriza Ssegiriinya ne banne wabula nasaba kkooti ekkirize abajulizi bano baweebwe obukuumi obumala basobole okuwa obulijizi buno awatali kutya nsonga yonna.

Ono era ayagala kkooti ekkirize ebikwata ku bajulizi bano 19 bisigale nga byakyama olw’ebyokwerinda byabwe nga kino omulamuzi asuubizza okukitunulamu.

Bo bannamateeka ba Ssegiriinya okubadde omubaka Shamim Malende  basabye omulamuzi wa Kkooti etunule mu ky’okuwa abantu baabwe okweyimirirwa kubanga bazze bakusaba emirundi mingi nga bagaanibwa.

Ate  abawagizi b’ ekibiina ki NUP babaka bano mwebava  bagamba nti Kano kafuuse kazannyo era n’omuwaabi wa gavumenti akimanyi nti abavunaanwa tebalina musango nebasaba bano baddizibwe eddembe lyabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top