Ebyobufuzi

Ssegirinya akoze eddaame eritiisa mu kkomera

Ssegirinya akoze eddaame eritiisa mu kkomera

Embeera yobulwadde embi Hon mohamed Ssegirinya gyalimu mu kkomera ng’ate Gavumenti egaanye okukkiriza yeeyimirirwe emutiisizza.

Omu ku mukwano gw’e yategeezezza nti Hon Ssegirinya yeeralikiridde ku lwobulamubwe era waliwo ebintu ebyomunda enyo nga nebimu biri mu kiraamokye bye yakitisse singa wabeerawo ekizibu nti kubanga musajja musiraamu.

” Omubaka yantiise ebyamabye bwe twasisinkanye ennaku ezo nga tebanakalubya bya kumweyimirira” Ono bwe yagambye.

Bino bidiridde ebyogerwa nti Ssegirinya yakoze eddaame Ennaku ezo nabaako bakuwa.

Ku Lwomukaaga looya wa Ssegirinya ( kawempe North) ne munne Allan ssewanyana (Makindye West) Hon shamimu malende yategeezezza nti embeera ya Segirinya mbi mu ddwaliro Lya murchison bay e luzira.

Ono yabuuzizza oba Gavumenti eyagala omubaka afe olwo.evunaane mulambogwe.

Malende okwogera bino kyadiridde omusango gwabantube obutawulirwa wiiki ewedde nga kigambibwa nti Segirinya y’abadde bubi nga tasobola kuteekebwa mu nkola ya zoomu.

Ababaka bombi nagalirwa ku misango egyenjawulo omuli omuli okutematema abantu nebijambiya e Masaka, obutujju nokugezaako okutta abantu mu ttemu eribadde e Masaka ennaku ezo era Kkooti zikyagaanye okubakiriza okweyimirirwa.

Kyokka bannamateeka babwe nekibiina kyabwe ekya NUP balumiriza nti Pulezidenti Museveni ne Gavumenti babasibako bisangosango kubonoona.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top