KAYUNGA
Omubaka w’e Bbaale mu paliyamenti, Charles Tebandeke y’omu ku bakulembeze abasabirwa mu buli misa ku kigo kya St. Matia Mulumba e Kitimbwa mu Bbaale.
Bano okumusabira buli lukedde kidiridde ensawo za ssementi kikumu (100) zeyabawadde mu kumaliriza enyumba ya Katonda e Kitimbwa. “Akatono ketufuna kwetudiza abantu baffe,” Tebandeke bwe yategeezezza Ssekanolya. Ono yawerekeddwako ababaka okuva mu kibiina kya NUP ab’egatira mu mukago ogumanyiddwa nga G-20

Tebandeke (wakati) ng’ali naba G-20 mu kusaba
G-20 erimu ababaka ba NUP abiri (20) bokka nga buli mwezi babaako gwe basondera mu nkola ya ‘niigina’ okudiza ku bantu b’ekitundu ky’akiikirira. Omwezi guno (May) G-20 eri Nakifuma ew’omubaka Fred Ssimbwa Kaggwa era nga ye sentebe wabwe.
