Ebyobufuzi

UMUKUUKA MUDOMA AYAGALA GAVUMENTI EYANGUYE OKUTONGOZA EMIRIMU GYA ENZHU YA MASABA

UMUKUUKA MUDOMA AYAGALA GAVUMENTI EYANGUYE OKUTONGOZA EMIRIMU GYA ENZHU YA MASABA
Umukuuka wa Inzhu ya Masaba Jude Mike Mudoma asabye gavumenti nga eyita mu minisitule yaayo eye kikula kya bantu okwanguya okumutongoza nga Umukuuka wa Inzhu ya Masaba owo kusatu asobole okukola emirimu gya Inzhu, bukya Umukuuka eyaliko Bob Mushikori afa, Inzhu ya Masaba ebadde no bugulumbo wamu no kusika emiguwa wakati wa Jude Mike Mudoma ne John Amram.
Wagabyalire nga balwanira entebe ya Umukuuka, kyawaliriza minisita Peace Mutuuzo eyali minisita ebiseera ebyo okujja okutuuza enjuyi zombi bafune okukkanya, era ne bawunzika nga bakkiriziganyizza nga Jude Mike Mudoma ye Umukuuka, naye John Amram Wagabyalire yagaana okukikkiriza era yekandagga na bawagizi be ne bafuluma olukiiko lwa minisita, yasibira wa minisita Frank Tumwebaze  eyaliko ebiseera ebyo, nga ono yayingira mu nsonga zaabwe era yasindika basajja be okugenda e Mbale okuzuula ekituufu ekibakaayanya.
bazzaayo amawulire nti Umukuuka eyalondebwa ye Jude Mike Mudoma wabula munne bwe baavuganya John Amram Wagabyalire yagaana buganyi okukikkiriza ebyaava mu kalulu, Mudoma agamba nti minisita aluddewo okujja okumutongoza kubanga ebiseera bigenda, jjukira Umukuuka wa Inzhu ya Masaba akulembera ekisanja kimu kya myaaka 5 ate alondebwa na kalulu.
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top