Amawulire

Ebyama lwaki paapa yalonze Ssemwogerere kubwa ssabasumba

Ebyama lwaki paapa yalonze Ssemwogerere kubwa ssabasumba

Omutukuvu paapa Fransic wiiki ewedde yalonze abadde omusumba w’essaza lye Kasana Luweero era nga bwalabirira badde n’essaza ekkulu erye Kampala bishop Paul Ssemwogerere okubeera Ssabasumba w’essaza lino okuva Cyprian Kizito Lwanga eyali alikulira okufa mu Apirl w’omwaka guno.

Omubaka wa paapa mu Uganda Ssabasumba Luigi Bianco yasinzidde kw’eklezia lutikko e Lubaga ku Lw’okuna lwa wiiki ewedde n’asoma ekiwandiiko ekyavudde  e Vaticano ewa paapa Francis nga kirangirira omusumba  Paul Ssemwogerere okubeera Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’ekampala oluvannyuma lw’eyali mu kifo kino Cyprian Kizito Lwanga okusangibwa ng’afiridde mu makage e Lubaga bwe yali yakamala okutambuza ekkubo ly’omusalaba mwaka guno.

Faaza Anthony Musaala eyasangiddwa ku lutikko e Lubaga yategezezza SSEKANOLYA nti,” eklezia ebadde yasigala nga mulekwa okuva kitaffe Ssabasumba Lwanga lwe yatufaako, naye Kati tuli basanyufu nti Katonda awulidde omulanga gwaffe n’atuwa omusumba Ssemwogerere okutukulembera. Tumusabira era tumusuubiza okubeera abawulize gyali era n’okugondera ebyo byonna byagenda okutugamba ng’omusumba.

Biki Ssemwogerere byayokekedde mu bukulembeze nga ssabasumba?

olw’okuba nti Kampala lye ssazza ekkulu, omusumba ssemwogerere ayolekedde olutalo okw’okulwanyisa abantu abesenza ku ttaka ly’eklezia, olutalo ssabasumba Lwanga yali alutandiseeko nga tannafa, ate n’okuteekawo enkolagana ennungi eri abo abalina liizi empaanvu ku ttaka lye Klezia.

Abasomesa be diini mu ssaza lye Kampala naddala abakolera mu bigo ebyesambye Kampala Bali mumbeera mbi, bangi bakina nnyo essuubi mu Musumba Ssemwogerere, kuba ekiseera we yabeerera ku Klezia ya Christ The King ne we yabeerera Vica General w’essaza ekkulu erye Kampala yabayamba nnyo okusitula embeera zabwe ez’okwekulakulanya.

Lwaki paapa yalonze semwogerere:

Ensonda okuva e Lubaga zategezezza nti omutukuvu paapa Francis abadde amaze ebbanga nga yetegereza omusumba Ssemwogerere ng’ayita mu mubaka we e Uganda, era okumulonda ku kifo kino tekyewunyisa.

Ensonda era zategezezza nti olw’okuba ssemwogere yaliko omumyuuka wa ssabasumba ebiseera we yabeerera bwanamukulu w’eklezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, abadde amanyi abantu bangi era ng’alina emikwano egiyinza okumuyambako okutuusa ekigambo Kya Katonda mu bifo ebyebyaalo eriri mu ssaza lino n’amasazza amalala agalirimu.

Omusumba Ssemwogerere azalibwa mu kigo kye Nkumba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebe,  obuwerezza bwe obusinga abukoledde mu ssazza ekkulu erye Kampala omuli n’okubeera bwanamukulu w’ekigo ekisinga ebifo byonna mu Kampala ekya Christ The King ate n’okubeera Vica General w’essaza ekkulu erye kampala. Omuntu okubeera mu bwanamukulu mu kifo kino n’okubeera Vica General, kabonero akalaga nti asobola okukulembera essaza, era yensonga lwaki yayanguwa okufuulibwa omusumba we Luweero ate Kati n’afuulibwa Ssabasumba.

Omuwandiisi w’essaza ekkulu erye Kampala Fr.Pius Male Ssentumbwe yategezezza nga ssabasumba omujja bwalina okusooka okugenda ewa paapa Fransice e Vatican okwebaza obululu ate n’okuweebwa ekyambalo ky’obwa Ssabasumba, Oluvannyuma emikolo egy’okumutuuza mubutongole  gitandike okutegekebwa.

Bbo abakristu mu ssaza lye Kasana- Luweero omusumba Ssemwogerere gyabadde, basanyukidde paapa okulonda omusumba Ssemwogerere nga ssabasumba kuba abadde kyakulabieako kinene Gye Bali era nga basuubira nti agya kisobola bulungi okukulembera essaza ekkulu erye Kampala.

Ono ye Musumba ow’okubiri okugyibwa mu ssaza lye Kasana-Luweero n’afuulibwa ssabasumba, ng’eyasooka ye yali ssabasumba kizito Lwanga Kati ate ne bishop Ssemwogerere eyalondeddwa okusikira ssabasumba Lwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top