Amawulire

KABAKA MWANGA

Obwakabaka bwa Buganda bwakalamulwa ba Kabaka babiri abalina erinnya erya Mwanga.

Eyasooka yali Kabaka Mwanga I.

Ggolooba Musanje ate  Nnyina ye Nnaluggwa.

Yasikira kitaawe omuto Kabaka Mawanda mu 1740.

Kabaka Mwanga I  ku Nnamulondo yamalako ennaku 9 zokka n’akisa omukono, era amasiro ge gasaangibwa Kavumba mu ssaza Busiro.

Kabaka Mwanga II

Kabaka Mwanga II ye yafuuka Kabaka wa Buganda owa 31, ng’alina emyaka 16 gyokka egy’obukulu.

Yazaalibwa mu 1868.

Amannya ge mu bujjuvu ye Daniel Basammulekkere Mwanga II Mukasa.

Yali musajja ng’annyirira era yali mugoogofu bulungi.

Mwanga II Mutabani wa Ssekabaka Muteesa I, ate nnyina ye Abisagi Baagalayaaze.

Yatuula ku Nnaamulondo mu mwaka gwa 1884.

Obukulembeze bwe bwayuguumizibwa nnyo entalo z’eddiini, era ng’entalo zino zezaaviirako n’okwokya abajjulizi e Namugongo mu 1886, omwali basajja be abaali batandise okujeemera ebiragiro bye.

Mu 1888 entalo zeezimu zaamuviirako okudduka munsi ye nawangangukira e Bukoba mu Tanzania, oluvannyuma lw’ebiwayi ebyenjawulo ebyali biwagirwa abazungu okumulwanyisa.

Oluvannyuma mu 1889 yaddamu nazimba eggye era nafuna amaanyi, naddamu n’atuula ku Nnaamulondo ya bajjaja be

Ku mulundi guno emirembe gyaddamu okubukala mu Buganda okumala akaseera, egyamuleetera n’okukola endagaano ey’okugabana obuyinza n’abazungu.

Nga wayise ekiseera kino, endagaano eno yagisazaamu bweyakizuula nti yqli tegasa Bwabaka bwe.

Mwanga II yaddamu naayungula eggye n’abalwanyisa, wabula baamuwangula mu 1897.

Ng’abazungu bamaze okumuwangula bamuwangangusiza mu bizinga bye Seychelles, era gyeyafiira mu 1901.

Nga wayise emyaka 9, enjole ya Ssekabaka Mwanga yakomezebwawo mu Buganda, era n’eterekebwa mu Masiro ge Kasubi mu 1910.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top