Akasattiro keyongedde mu banna Yuganda gavumenti wevuddeyo negamba nti esonga z’okutwala ssente z’abantu ezirudde ku akawunti z’e ssimu nebbanka nti siyakusaga ensimbi zonna ezinasangibwa nga zirudde ku akawunti zigenda kutwalibwa awatali kwebuuza ku muntu yenna .
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija yasinzidde ku Media Centre mu Kampala nagamba nti ensimbi gavumenti zegenda okutwala zezo ezirudde ku akawunti okumala ebbanga lya myaka ebiri sosi myezi 9 nga ebigambo webigenda byogerebwa ku mikutu Social Media.
Kasaija agambye nti wadde yasazeewo okukola kino naye bawadde omukisa bannanyini nsimbi ezinabeera zitwaliddwa nti basobola okuzibaddiza kasita banagya n’obukakafu naddala ezabantu zebanaba batutte nga baafa nga balina okugya nebiwandiiko byonna ebiraga nti bebaali bannanyini nsimbi.
Ayongeddko nti kino bakikoze kubanga waliwo obwetavu bwokukoa ebintu bingi mu ggwanga kubanga kati ensimbi ntono eziyingira mu ggwanga olwa ekirwadde kya Covid y’ensonga lwaki n’ekitongole kya URA tekikyasobola kukungaanya musolo gumala kati nti ensimbi zino zigya kuyambako okuddukanya eggwanga .
Agumizza banna Uganda nti omugalo wegunavirawo ddala mu ggwanga eby’enfuna bigya kuddamu biterere eggwanga ligenda mu maaso litambule nga webyali nga Covid tanatuuka.
Abamu ku bantu bavuddeyo nebatabukira gavumenti okuvaayo negamba nti egenda kutwala ssente z’abantu eziri ku akawunti nti kikyamu kubanga sente bazitereka zibayamba mu bizibu ebiyinza ojubalumba mu maaso kati webazitwala gavumenti ebeera eraze obubbi obw’ekika ekyawugula erina kutekeratekera bantu sosi kutwala nsimbi zabwe zebeterekera.
Abasuubuzi nabo batabuse nebagamba nti gavumenti ebabiniseeko emisolo egiwerako egibagoba mu bizinensi kati ate ne nsimbi zebabadde beterekera okunavunusa ebisera ebizibu ate gavumenti eyagala kuzibabbako nebalabula gavumenti nti esinga esonga gyeliko eyokutwala ssente za bantu yandivaako olutalo kubanga abantu bakooye okunyigirizibwa.