Ebyobufuzi

Akasattiro mu Bannayuganda abaagala enkyukakyuka

Akasattiro mu Bannayuganda abaagala enkyukakyuka

Waliwo akasattiro mu Bannayuganda abaagala enkyukakyuka era abalowooleza mu mukulembeze wa NUP Hon. Bobi Wine ne NUP ate okutandika okuwulira nti Gen. Salim Saleh atandise okukozesa ssente okusensera NUP.

Akasattiro kano era kazingiddemu n’abamu ku banene mu NUP nga beebuuza kiki ekiyinza okuddako bwekiba nti ddala abamu ku bakulu mu NUP batandise okusisinkana Gen. Saleh agambibwa nti Pulezidenti Museveni gw’e yattisse ebisawo bya ssente okusaanyawo NUP, erabika nga yeebadde ekyalemeddewo okumuvuganya. Ng’ogyeko NUP, ebibiina bya opozisoni ebisigadde omuli UPC, DP ne FDC, Pulezidenti Museveni yabisensera dda era kigambibwa nti bwe bibeera bakazi, abizaddemu n’abaana.

Okutya kuddiridde ebigambibwa okuba ebyama wakati w’omubaka wa Nakawa West Hon. Joel Ssenyonyi ne Gen. Saleh nga biraga nga bwe babadde bakukuta era nga waliwo n’obukadde bwa ssente obubadde bukyusa emikono.

Mu mboozi eno eyasaansaanyiziddwa ku soso midiya, eraga nti Hon. Joel Ssenyonyi agezaako okuyingiza Bobi ekitimba abeere ng’alya ssente za Museveni atunde Bannayuganda. Emboozi eraga nti waliwo abanene mu NUP abakolera NRM ne Museveni. Kyokka Joel Ssenyonyi yategeezezza nti abaakoze ebyo bafere, abagezaako okwonoona erinnyalye ne NUP. Yagambye nti yeewuunya obujega bw’abantu bano kubanga n’ekifaananyi kye baatadde ku mukutu ogwa whatsapp ogugambibwa okuba ogugwe ate ye sikyakozesa.

Kyokka ensonda mu NUP zaategeezezza nti “oba bituufu oba ssibituufu era bitutabangudde emitima kubanga omwogezi oluusi alaba kyokka ekimutta kuwayiiriza”

Ono yagambye nti okutwaliza awamu NUP eteekwa okwenyweza ennyo n’okwekubamu tooki kubanga Museveni mumalirivu okugisaanyawo.

Waliwo abazze batunuza omudumu mu bakulembeze ba NUP abo ku ntiko nga ne ssabawandiisi waayo Rubongoya mw’omutwalidde nga beebuuza lwaki NUP ennaku zino epipira n’okuvumbeera. Bano batya nti osanga namujinga atandise okugirya. Ate owa NRM owomunda yategeezezza nti n’abalumirirwa NUP basobola okkusaawo ekibooziboozi ng’ekyafulumiziddwa ku Ssenyonyi n’ekigendererwa okumutangira bwaba abadde atandise okufuna endali, nti ggw’ate, bamala okukutemerera ebyo nootekanga?

Yagambye nti essaawa eno ng’abantu batandise okubala 2026 ne ani atunuulidde entebe ya Museveni ebintu byonna bigenda kukozesebwa ku baagala okwetemera ekkubbo nga muno mulimu okufa, ssente, amasasi ne siyaasa kubanga era ebyo byekozesebwa mu kuzimba eby’obufuzi n’asaba abantu beebeereremu.

Wiiki ewedde olupapula luno lwakulaze engeri olutalo lw’okusikira Pulezidenti Museveni olumaze ebbanga era olugambibwa nti lulimu okufa n’okuwona nga bwe lweyongedde ebbugumu olw’ebigambibwa nti Museveni atandise okulowooza ku ky’obuteesimbawo mu 2026. Museveni eyawamba obuyinza mu 1986 mu 2026 ajja kuba awezezza emyaka 40 ng’akalakata Uganda era ng’agenze anafuwa ng’omuntu kubanga ajja kuba mu myaka 80 n’omusobyo.

Wadde tewakyali kkomo ku myaka naye waliwo ebigambibwa nti munda mu NRM mulimu omupango okussaawo omuntu omulala afuge nga Pulezidenti Museveni akyalinamu ku maanyi ng’ekigendererwa nti omusika bwe yeemamaaza muzeeyi aba asobola okuboggolako ne bamugyawo wakiri jjajja n’akomawo oba okuwanda ku muntu omulala eddusu.

Ensonda munda mu NRM zategeezezza Ssekanolya nti olukwe luno lutegekebwa mu kyama ate lututte ebbanga nti abalumanyiko era abaluwagira, nabo tebatudde era balulwanyisiza munda era buli munene afa kati ne bwabeera afudde lumberwe banguwa mangu okukissa ku bamaafia nti beebali mu kwerula ekubbo.

Ebyama ebitiisa byongera okulaga nti NRM erina obubbadi bwetegese okukola okulaba nti ezaawo omusika wa Museveni nga Bannayuganda ne Bannabyabufuzi n’abebyokwerinda nga tebatabuse oba okwekyanga mu ngeri emu oba endala ekiyinza okugootaanya emirembe n’enkulaakulana ebiriwo.

Mu kino abamu ku banene mu NRM baagala Lt.Gen. Muhoozi Kainerugaba ng’ono ye mutabani wa Pulezidenti Museveni y’aba akwata mu kintu,  kyokka waliwo abalala abagamba nti akyali mwana, wakiri bakikwase eyaliko ssaabaminisita Amama Mbabazi kubanga alina obusobozi ate mu NRM gyeyayambako okutandika, akyalimu nnyo ate ng’obutakkaanyabwe ne Museveni yabukwata bulungi talinga ba Col. Kiiza Besigye oba abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });