Eyali omuyambi w’omubaka wa munisupaali ye nga Kati ye spiika wa Mukono central division Allan Mawanda ategezezza SSEKANOLYA nga bwagudde mu lukwe eyali mukama we Betty Nambooze Bakireke lwaluka okumusuuza obwa spiika oluvannyuma lw’okubotola ebyaama ku mukamawe, eyali amaze ebbanga nga tabasasula ate n’agula mmotoka ezitambuza abafu.
Mawanda yategezezza ng’ensonda okuva e Nakabago mumaka g’omubaka Nambooze bwe zamutegezezza ng’omubaka bwe yayise ba kansala abamuwuliriramu ku central division n’abasomeramu emitendera gye balina okuyitamu okugya obwesige mu spiika.
Ono yatugambye nti okuva lwe yategeeza omubaka nga bwalekulidde omulimu gwe yali akola olw’obutasasulwa ate n’obutaweebwa Kitiibwa ng’abakozi, azze afuna okutisibwatisibwa okuva ew’omubaka Nambooze, nga Kati akola kyonna ekisoboka okulaba ng’ebyobufuzi bye e mukono bikoma. Mawanda bwe yava ewa Nambooze yategeeza nga bwagenda okwesimba ku kifo Ky’omubaka wa monicipaali ye mukono mu kulonda kwa 2026, ekintu ekyakyankalanya ennyo omubaka Nambooze, kuba ebisanja bibiri ebiwedde, Mawanda abadde mundu mmenye eri okuwangula kwe.
Spiika Mawanda yagambye SSEKANOLYA nti, ” omubaka Nambooze okubeera nga yeyali atukulira, yalowooza nti bwe nondebwa kubwa spiika ng’enda kutambulira munkwawa ze nga bwazze akola kue yali alowooza, nze nga spiika atwala central division ebintu ebisalawo tetugenda kukirizza kusooka kuyita wa Nambooze kubanga kubanga ssi yalina okusalawo okutesebwa n’okukolebwa mu mukono central division.
Omubaka amaze ebbanga ng’agugulana n’abamu kubakozi be abamuyambako okunoonya akalulu, kyokka kuntandikwa yomwaka guno, spiika Mawanda ne kansala Fred Kiyimba eyali amuvuga n’abakozi abalala bamutabukira lw’abutabasasula ne beyunga kunkambi ya Hanifah Nabukeera omubaka omukyaala owa disitulikiti ye mukono.
Ensonda zatugambye nti omubaka Nambooze yafuba nnyo okulaba nga ebifo ebyenkizo mu kanso zonna nga biweebwa abantu abamukiririzamu okuva ku mumyuuka wa sentebe, spiika ate n’obukiiko obwenjawulo nti era yafubannyo okulaba nga Mawanda atwaala ekifo ky’obwa spiika, ekintu ye kansala Mawanda kye yawakanyizza era n’agamba nti bino byonna Nambooze yali yeteeka mubutaala, talina n’akimu kye ye muyambako ekifo yakifuna lwa busobozi bwe.
Mawanda era yayongedde okubotola ebyaama nti buli muntu ayawukan ne Nambooze, amugulako olutalo n’atandika okumulwanyisa okugeza eyali meeya we mukono George Fred Kagimu bwe bayawukana naye era n’alangirira nga bwe yali agenda okwesimba ku kifo ky’obubaka bwa palamenti ne bakansala abamuvaako bwatandise okutwalwa.
Akulira ekibiina Kya NUP mu mukono monicipaali era nga ye sentebe wa mukono central division Robert Peter Kabanda yategezezza nga bwe balwana okulaba ng’entalo ezo zikomekerezebwa era n’asuubiza nga bwagenda okutuula n’abakulu e Kamwokya ne magere okulaba nga bakwasaganya enjuuyi zombi.