Okuva ssentebe wa disitulikiti ye mukono Rev. Peter Bakaluba Mukasa atuula mu Ntebe eno oyinza okugamba tenamugondera.
Bakaluba yatandikira muntalo z’ettaka okutudde ekitebe Kya disitulikiti ng’agamba nti ekitebe Kya disitulikiti kiririnako obwananyini oluvannyuma lw’okufuna liizi okuva mu kitongole kye ttaka ekya Uganda land commission sso nga n’obwakaba bwa Buganda bulumiriza nti ettaka eryetolodde n’okutudde ekitebe ly’abwakabaka bwa Buganda.
Mulutalo olw’ebigambo n’omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaggwe ssekiboobo Elijah Bogeere, Bakaluba yategeeza abakulu okuva e mmengo nga obutamanya kusoma lungereza kye bwe kyalemesa ssekiboobo okutaputa obulungi ebiwandiiko n’okwesiba ku ttaka, Kyokka oluvannyuma Bakaluba yetonda mu maaso ga katikiro e kisoga bwe yali azze okutongoza okulima emmwanyi.
Mu biseera by’okunoonya akalulu olutalo lwa Nambooze ne Bakaluba olwoliwo oluvannyuma lwa Bakaluba okutega Nambooze enguzi ya 60000/ ezamutwaza munkomyo e Luzira, bangi balowooza nti byonna ebyaliwo byaggwa era ng’omubaka Nambooze ategeza àbantu nti Mr.Principle (Bobi Wine) bwe yabatabaganya, Kyokka olunaku Bakaluba lweyalayira okukulembera disitulikiti Nambooze yakiraga mu lwatu nti akakkuku kakyalimu, Bakaluba bwe yalonda kansala Hasuman Muhumuza akikirira abakadde nga omumyuuka wa sentebe, ekintu ekyatabula Nambooze ne yekandagga era n’avaawo.
Entalo zekibira Namyooya:-
Nambooze yatandika okuleeta ensonga z’ okwezza ettaka okuli ekibira Kya Namyooya mu gombolola ye Goma, (de gazzeting Namyooya forest) Wabula era Bakaluba y’omu kubakyafukidde Nambooze ekizibu era n’okumulemesa okugusa ensonga eno ng’ayita muba kansala n’ewankubadde nga kigambibwa nti abanene bangi mu ggwanga abalina ebyapa ku ttaka okuli ekibira kino era nga kiteberezebwa okuba nga bebatuma Nambooze basoobole okwetongola obulungi.
Olutalo lwa MP Nabukeera ne Nambooze:-
Omubaka omukyala owa disitulikiti ye mukono Hanifer Nabukeera Luswata bukya ayingira palamenti, wabalukawo obutakkanya n’olutalo olw’ekimpowooze wakati we ne Nambooze. Okusooka Nambooze yayagala okulaga Nabukeera nti yamutegerera mubuli Nsonga, ekintu Nabukeera kyatakkiriza kuba mwalimu okumutwalira munkwawa n’okumusalirawo ekirungi n’ekibi.
Nabukeera yayongera okulaga obubalirivu, bwe yakola office eyiye ng’omubaka owa disitulikiti, ekintu ekyaluma ennyo Nambooze kuba yali ayagala bakozese ofisi emu eri mumakage e Nakabago. Ono era yasigula abamu kubakozi ba Nambooze omwali omuyambiwe owokuntiiko Allan Mawanda, Driver we Fred Kiyimba, n’abalala bangi abali bamaze ebbanga nga tebasasulwa, n’abawa ebifo ebisava mw’ofisi ye n’abamu okubafuula abayambi be mubitundu bya disitulikiti ebyenjawulo.
Nambooze batandise okumulamuza:-
Yadde nga wakayita omwaka gumu bukyanga kulonda kuggwa, abantu abenjawulo batandise okukuba ebituli n’okulengera obunafu bwabo abalondebwa ne batuuka n’okulangirira nga bwe begwanyiza ebifo byabwe mu kisanja ekigya.
Nambooze ayolekedde olusozi oluwanvu okuva Akulira ekibiina kya Nup mu mukono Central division era ssentebe wa mukono Central division Robert Peter Kabanda okulangirira nga bwagenda okwesimba Kwa MP bwa mukono Monicipality mu kulonda Kwa 2026