Omukubiriza w’olukiiko lw’ eggombolola y’ ekyampisi mu district y’e mukono Richard Kaddu akangudde ku ddoboozi lwa bakansala butakola mirimu gyabwe.nga bwegirambikiddwa mu ssemateeka afuga gavumenti ez’ ebitundu , sipiika agamba nti kunokuba kulyazamanya babalonda .
On’okuva mumbera kidiridde kansala Mather Kakayi sentebe w’akakiiko ka genernal purpose okusoma alipota eyawukana nebyo ebyateesebwa mu kakiiko, kansala Zaake akikirira abantu b’ebulijjo Zaake Peter yategezeza kanso ng’ ebisomeddwa bwebiyawukana nebyo ebyali biteseddwa mu kakiiko.
Ono alumiriza sentebe okwekobana n’abakozi a abekikugu ne basula ebiteeso byabwe bo nga bakansala abakirira abantu olwo ebirowoozo byabakozi ab’ ekikugu era bano bagadde endongo
Embera yemu erabikiddeko ne mu alipota y’ akakiiko k’ ebyensimbi bwesomeddwa nga erimu ebirumira kansala Ssenkungu Frances bwatakanyiza nabibademu.
Bino bitabudde sipiika nalangira ba kansala okukozesa omutindo ogw’e kiboggwe ekiremeseza okutusa obuvunanyizibwa bwabwe , abalonzi babatuma kubawereza kyayise okulyazamanya abalonzi.
Ono asazewo okugoba alipota ya general purpose committe nalagira eddizibweyo mu kakiiko eteekebweteekebwe bulungi.
Sipiika wa district y’ emukono Betty Nakasi omu kubetabye mu lukiiko luno ategezeza nga bakansala bwebabulamu emisomo okubabangula kuba bangi kubano bakyali bagye nga nekyebatekeddwa okukola tebanakitegera, bwatyo asabya Nampala w’ abakozi ba gavumenti attwala district y’emukono James Nkata okwatagana n’abami ab’ amagombolola okuteekerateeekera bakansala bonna emisomo okubabangula.
Mulukiiko lwerumu lwayisiza ekiteeso okugya akaddukulu ku nnyumba y’ omwami wa kabaka ow’eggombolola mutuba esatu kyampisi , wano olukiiko luyisiza ekiteeso okuzimbira abasibe kaddukulu akagya.