Enkalu zeyongedde ku kifo ekibaddemu Omungezi Jacob Oulanyah mutabani we Andrew Ojok bwavuddeyo nakakasa nti mwetegefu okuvuganya mu kifo ekibaddemu kitaawe akutukirize emirimu omugenzi Oulanyah gyabadde atandiseewo kyokka abalala abegwanyiza ekifo kino nebalabula abakulira eby’okulondesa mu NRM nti tebageza nebawa Ojok tikitekiti nga tebamaze kuyita mu kamyufu kubanga nabo balina obusobozi okubeera ababaka ba OMORO .
Ojok agambye nti kitaawe alese ebintu bingi byabadde tanaba kutukirizza omuli ekibiina kya Oulanyah Foundatio mwabadde ayitire okusonmesa abaana abasoba mu 100 agamu ku mukubo e Omoro gakyali mu mbeera mbi nga kitaawe wafiridde abadde amaze okukola entekateeka y’okugakola kubanga ekitteeso kye kyali kyatuuka dda mu gavumenti nga bino byonna bibadde bilooto bya kitaawe kati ayagala bitukilire ng’alina okubitukiriza ng’afuuse omubaka wa Omoro
Ono yasooka kulagibwa bakungubazi mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku kisaawe kya Lalogi Primary School lwebaziika omungezi Oulanyah nga yalagibwa kitaawe omuto Francis Emona eyasaba abakungubazi okuyimilira wabo ne famire y’omugenzi Oulanyah bawagire Oj adde mu bigere bya kitaawe .
Sabaawandiisi wa NM Richard Tadwong yagambye nti bagenda kutuula nabantu bonna abagala okuvuganya ku kifo kino babogereze bave mu lw’okaano balekere mutabani wa Oulanyah avuganye ne ba kandidenti abalala abagenda okuva mu bibiina ebiralala era bakole n’amanyi mangi okulaba nga ekifo kino bakyeddiza kubanga by’ebimu kubitundu NRM gyelina obuwagizi obwa manyi tebagala bibiina birala bikibatwaleko.
Bino webigidde nga waliwo okusika omuguwa mu bakulembeze ba NRM e Omoro nga bakulembeddwa ssentebe wa disitulikiti eno Okolle Okao nga naye yegwanyizza ekifo kino bano bagamba nti bagala wabeerewo akamyufufu ku ani anakwatira NRM bbendera ku kifo ky’e Omoro ssosi kumala gasimbawo nga tayise mu kamyufu kubanga nabo bewulira nti basobola okufuuka omubaka wa Onmoro .
Ensonda zitegezezza nti ebibina ebili ku ludda oluvuganya okuli NUP, DP ne FDC bikyepenye okuvaayo okulaga amanyi ku kifo kino kubanga nti ebibina bino bitya nti newebanaleta kandidenti wabwe ayinza obutawangula nti NRM era yetegese singa ekibiina kya opozisoni kiwangula akalulu kano bantu NRM yetegese okuzesa akakodyo keyakozesa okujuza ekifo kya kya LC5 e Kayunga y’ensonga lwaki etegeka z’okuleeta kandidenti e Omoro ebibiina bya Opozisoni zigikutte kasoobo.