Amawulire

Ssaabasumba Ssemogerere asabye abantu okugaba omusaayi

Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere, asabye abantu okukola ebikolwa eby’ekisa eri bantu banaabwe mu kaweefube w’okutumbula embeera zaabwe awamu n’okuzimba ensi yaffe.

Bino Ssaabasumba yabyogeredde ku Tek Country Gardens e Buwama, mu Ssaza ly’e Mawokota olunaku lwa ggyo, bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo abantu b’eggombolola ya Musaale Buwama, kwe baakungaanyirizza omusaayi mu kaweefube w’Obwakabaka ow’okukungaanya omussayi, akulembeddwamu ekitongole ki Kabaka Foundation.

Ssaabasumba yagambye nti ekikolwa eky’okuwaayo omusaayi kirungi nnyo kuba kigendererwamu okutaasa obulamu bw’abantu, era n’asaba abantu okujumbira kaweefube ono.

Yakkaatirizza obukulu bw’okugaba nga Katonda bw’alagira era n’akakasa nti Katonda ayamba nnyo abo abawaayo n’essanyu.

Avumiridde abasawo batunda omusaayi mu malwaliro, ky’agambye nti kikolwa kya butemu ekiviirako n’abantu abamu okufa olw’obutaba na nsimbi zigusasula. Olunaku lwa ggyo mu ggomolola ya Musaale, baakungaanyizza unit z’omusaayi 1015.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top