SAM KAYIZA 24, omutuuze w’e Bweyogerere Kirinya zooni ng’akola gwa buzimbi agamba nti abaselikale bamusanga nga 21 December omwaka oguwedde mu wooteri weyali agenze okufuna emmere ku saawa 1 akawungenzi ku kyalo Kiswera ekisangibwa mu Mukono disitulikiti abaserikale 2 bamuzingiriza munda mweyali atudde ne banne abalala 4 nebamulagira ayimilira nasooka nagaana nebamusongamu pisto nagonda nebamukwata jeeke nebamuwalabanya okutuuka mu mmotoka ya Drone eyali enjeru mu langi, weyatuka munda yasangamu banne abalala 6 nga basibiddwa akandoya no bukokolo ku maaso , yalaba ennyondo, magalo , ne miggo nga bili mu mmotoka era naye mu bwangu bamusiba akandoya ku maaso teyaddamu kulaba kintu kilala wano batandika okumukuba kibooko ne bigala by’e mmundu ku mutwe n’embirizi nokumulumisa magalookwetolola omubori gwonna nga webamubuuza lwaki atimbulula ebipande bya NRM nebatekako ebya Bobi.
Agamba nti babakuba kibooko kyokka nti mu mbeera eyo waliwo banabwe bebabadde balinyanko ekiro nga tebenyenye wadde okuvaamu ekigambo kyonna ate nga nabo tebasobola kulaba kyabatuseeko olwokuba nti babadde basibe obukokolo ku maaso nga tebasoboa kulaba lwaki banabwe tebenyenyamu obudde webukeera ku makya abaserikale bayingira munda nebabayoola yoola nebabafulumya ekibadde kibalowoozesa nti kirabika baali bafudde olwembeera y’otulugunyizibwa gyebadde bayitamu nga bali mu kkomera munda kkomera
Sharif Sozi 34, omutuuze w’e Kireka agamba nti yawambibwa abaserikale mu December omwaka oguwedde weyali ava e Bwaise okukola mu lufula ku Kalerwe kyokka yali yakava mu takisi ng’atambula okudda e Kireka gyabeera ku saawa 2 eze kiro emmotoka ya Drone yagya nemusibirako abasajja abaali bambadde ebyambalo ebidduvugu bamukwata nebamuyingiza mu mmotoka munda mweyasanga abantu abalala 6 nga bonna babasibiddwa obukokolo mu maaso, nga mu mmotoka yalabamu emitayimbwa , magalo nabaserikale abalala 4 abali bakutte emmundu nga bakambwe nnyo tebaseka abamukwata naye nebamusiba akandoya nakakokola mu maaso awo teyadamu kulaba gyebamutwa.
Ayogera nti abantu ababeera bawambiddwa ekifo kyatategeera kubanga bali basibiddwa amaaso babagya mu mmotoka nebabayingiza mu mu kisenge nga kyonna kikutte ezikizza gyebasisinkana banabwe abaali bakaaba n’okulajana olwobulumi obuva ku kibooko ezali zibakubibwa nga bakozesa waya za Solido ezamasanyalaze n’okufumitibwa empiso ku mubiri gwona era nabo olwatuka munda babatukiza ku kibooko n’okufumitibwa empiso nga webababuuza okubabulira ekiikko zebatuuza eza Bobi Wine ekifo wezituula kyokka nti mu kifo kino bamalayo omwezi gumu nga bababonyabonya nebabakwata nebabasuula mu ddwaliro e Nsabya omwezi oguwedde abasawo nebatandika okubajanjaba ebiwundu byebalina ku mubili olwa wona mu kwekubalagira okunoonya abenganda zabwe kyoka babasaako obukwakulizo obutayogera wa gyebabadde nti gwebanakwata ng’aliko byayogedde wakubunabibwa.
