Amawulire

Obunkenke bweyongedde.

Obunkenke bweyongedde wakati wa America ne China olwa bbaluuni omuli ebyuma ebikessi eyakubiddwa mu bwengula bwa America.


Amerika ye yakubye bbaluuni eno, China gye yabadde esindise mu America okuketta enkambi z’ebyokulwanyisa, emmundu ezirimu n’obungi bw’abajaasi mu lulumba olwayongedde okusajjula enkolagana y’amawanga gombi.
Okumanya China yajooze America, ebyuma bino yabisindikidde mu bbaluuni bbiri ezaamaze wiiki ennamba nga ziseeyeeyeza mu bwengula bwa America, ng’eggwanga eryo erisinga amaanyi ku nsi terimanyi.
China ekolagana ne Russia bwe batalima kambugu ne America, basula bayiiya kye bakolera eggwanga eryo nga ne bbaluuni zino kwabadde kuketta okusembayo okulaba kye bakola okutuusa abagoba b’ennyonyi z’abasaabaze lwe baategeezezza ekitongole ky’entambula z’ennyonyi z’amagye bwe balaba bbaluuni mu bwengula ze batamanyi.
Bbaluuni bbiri zaabadde ziseeyeeyeza ku ffuuti 60,000 kyokka ng’ennyonyi z’abasaabaze zitambulira wakati wa ffuuti 25,000 ne 40,000 era nga kino China yakikola mu bugenderevu kireme kutaataaganya ntambula za nnyonyi.
Ekitebe ky’amagye ga America ekya Pentagon bwe kyatemezeddwaako, kyakozesezza ebyuma bya ‘radar’ ebiketta obwengula naddala emmundu, mizayiro n’ebikompola nga ku bwaguuga bwa bbaluuni ze batamanyi kwe balaba kyokka nga kuliko amannya agaawandiikibwa mu lulimi Oluchina. Bbaluuni zaabadde bbiri wabula emu tebaagirabye ne batuuka n’okuwakana n’abennyonyi abaasoose okuwa amawulire gano era emboozi yatambudde bw’eti wammanga;
Okuteesa mu Palamenti kwe kwazzeeko era mu bwangu China yeewozezzaako nti kibuyaga ow’amaanyi ye yagiwugudde okugiggya ewaabwe gye baabadde banoonyereza ku by’embeera y’obudde n’etuuka mu America.


Olw’okuba America yasoose kulaba bbaluuni emu, mu butongole, China nayo gye yayogeddeko eyookubiri teyaginyezeeko n’esigala ng’eketta ng’endala bwe bagiteesaako. Bino America yabigaanye ng’egamba nti tekisoboka bbaluuni kwevuga mayiro ezisukka mu 7,000 eziri wakati w’amawanga gombi ng’avunaanyizibwa tannasaba buyambi kugitangira, okugiremesa oba okwogera akaati nti waliwo ekiriwo! Okuva e China okutuuka mu America waliwo kkiromita 11,646 (ze mayiro 7,236).
Eggye lya America nga limaze okukakasa nti bbaluuni yabadde ejjudde ebyuma ebikessi ebyabadde bikuhhaanyizza bwiino ku ntambuza y’amagye gaalyo, Pulezidenti Joe Biden yategeezeddwa byonna ebyabaddewo n’awa ekiragiro ekisembayo bbaluuni gye yayise ey’omutawaana ekubwe esaanyizibwewo.
Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, bbaluuni lwe baagirabye, China yalabudde ku binaddako singa bbaluuni yaayo ekola ku ‘by’enteebereza y’obudde’ bagikuba ekyatiisizza America n’esooka eddako emabega yeetegereze ekituufu ekyabadde mu bbaluuni n’eddamu n’eraba obujulizi obugiruma n’etabuka buto. Mu kadde kano, Abachina baabadde bongedde ku misinde bbaluuni gy’eddukirako eve mangu mu America egende n’obujulizi bwayo kyokka tekyasobose. Baabadde bagivugira ku limooti era yabadde emalako America ng’etuuka ku liyanja lya Atlantic, Biden n’aduumira olutalo.
America eyungula eggye eryakanze china nga likuba bbaluuni
Olwo lwabadde Lwamukaaga ng’obudde bwa kiddedde ne basalawo ne bbaluuni bagirindire ddala eve mu bantu bagikubire mu bwengula bw’eriyanja lya Atlantic nga wansi tewali bantu bayinza kugwiirwa bipapajjo ne bibakosa.
Ennyonyi mutasubwa zisituka
Baasindise ennyonyi ennwaanyi ng’oyinza okulowooza balumba nkambi z’amagye kubanga kwabaddeko eza ‘Multiple fighter’ ezirwana mu mbeera z’obudde zonna nga kuliko n’eza ‘refueling’ ezongera mu zinnaazo amafuta nga gaweddemu nga tezivudde mu bwengula.
Ennyonyi ezisinga zaabadde kika kya F-22 fighters okuva ku kisaawe kya Langley Air Force Base mu ssaza ly’e Virginia ku ssaawa 8:30.
Zonna zaabaddeko mizayiro ekika kya AIM-9X supersonic, heat-seeking, air-to-air missile okusinziira ku munnamagye w’eggye lya America ery’omu bbanga ataayatuukiriziddwa mannya.
Bbaluuni yapimiddwa n’eyisibwamu mizayiro n’etulika buli kimu ekyabaddemu ne kiyiika mu nnyanja. Wano amagye ag’empingu gaatandise okukung’aanya obujulizi ku byabaddemu okuddamu okubyetegereza nga China bw’eyomba ku kye yayise okugisosonkereza n’eraga bw’egenda okwesasuza.
Okusinziira ku mawulire ga AFP, China yategeezezza nti bwe kiba nga America erowooza nti yabadde ebega America, ekebere ebipapajjo lw’ejja okukakasa nti tewali kirimu kyokka bannassaayansi balowooza nti bye yabadde ekesse byonna byabadde biweerezebwa butereevu e China era ng’omulimu gwayo gwawedde dda.
Pentagon eraba bbaluuni endala
Amangu ddala ng’esooka ekubiddwa, Pentagon yalengedde bbaluuni endala kyokka ng’eno yagenze okulabibwa ng’emazeeko America ng’eyolekedde amawanga agaakazibwako erya Latin Amerika omuli Costa Rica, Cuba n’amalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });