Amawulire

Owek. Mayiga akuutidde bannamateeka okulwanirira obwenkanya

Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde bannamateeka abamaliriza emisomo ku ttendekero lya ‘Law Development Centre (LDC)’ bulijjo okulwanirira obwenkanya kuba guno gwe mulimu gwabwe omukulu.

Entanda Katikkiro Mayiga yagiwadde ng’asisinkanye bannamateeka abamaliriza emisomo gyabwe ku LDC ku Lwokusatu e Bulange Mmengo nga bano bakuliddwamu amyuka ssentebe wa Buganda Youth Council  Kavuma Derrick.

“Mbakuutira okukola emirimu nga muli beesimbu, amateeka abatali bannamateeka balowooza balooya baliwo kuwolereza bazzi bamisango. Omulimu gwa looya omukulu si kuwolereza bazzi bamisango wadde nabo asobola okubawolereza naye ekikulu kwekulaba nti ensi erimu obwenkanya kubanga nazizza omusango aba alina eddembe lye eddala,” Owek. Mayiga bweyategeezezza.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga si buli atta omuntu, abeera mutemu naye enjawulo eno erabibwa bannamateeka bokka kuba bafuna okutendekebwa kuba kisoboka okuba nti akoze ekikolwa ekyo abadde mulalu, nga yakyocookeddwa ekimala oba okwerwanako.

Owek. Mayiga yategeezezza  nti obwenkanya bulina okutuuka ku buli mulimu nebweba basuubuzi nga balina ebyamaguzi bye baagala okuwanyisiganya balina okubalaga ekituufu nabasaba okunyweza obwesimbu.

Yabasabye okubeera abeesigwa era beewale okukolera abafere basobole okukuuma ekitiibwa kyabwe.

Ono yabakuutidde okutambula n’omulembe kuba bingi ebizze bikyuuka okuviira ddala ku mirembe gy’ Abaroma. Abakuutidde okubaako ebirala byebamanya nga bannamateeka kuba ensi eyanguyira nnyo abo abalina obumanyi.

Ye minisita w’ebyamateeka era Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika yabaaniriza  era nabakulisa emisomo kuba LDC emanyiddwa okubeera enzibu.

Ssaabawolereza yabasabye bulijjo okunyweza ensa bweba baagala okubeera ab’omugaso mu nsi era beewale obulyake n’omululu.

Eyakuliddemu bannamateeka bano Derrick Kavuma  kulwa banne yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okugatta abantu ba Kabaka nga tafuddeyo ku gyebava era namwebaza olw’enkulaakulana n’enteekateeka ez’enjawulo zatadde mu bantu ba Kabaka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top