Kitalo! Elizabeth Ibanda Nahamya eyaliko omulamuzi wa Kkooti enkulu n’awummula afudde. Ono yafiiridde mu ggwanga lya Budaaki (Netherlands).
Okubika kuno kufulumidde ku mukutu gw’abalamuzi ogwa twitter.
Nahamya yaliko omulamuzi wa Kkooti Enkulu eya Uganda ate n’akola mu kkooti ez’enjawulo ng’omulamuzi mu nsi endala okuli; Sierra-Leone, mu kitongole ky’amawanga amagatte ku kakiiko akassibwawo okunoonyereza ku buzzi bw’emisango aka United Nations Criminal Tribunal for Rwanda. Era yakolako ne bannamateeka ba Katende, Ssempebwa and Company Advocates n’awalala wangi.
Ebitongole ebirala by’akolaganye nabyo kuliko; Uganda Law Society, East African Law Society, Uganda Women Lawyers, Transparency Uganda-Member Advisory Council For kids (A civic voluntary group catering for street children)-2000-2004.
Ebisingawo birinde bijja