Amawulire

Omukulu w’essomero eyagenze e Kyankwanzi okutendekebwa ne banne atondose n’afa mu ntiisa.

Ekikangabwa kino kyaguddewo mu budde bw’okumakya ga leero ku Ssande ku ttendekero lya gavumenti erya National Leadership Institute (NALI). Okusinziira kw’omu ku baabaddewo, Julius Mukwanya eyali omukulu w’essomero lya Mukono Mukono High School agambye nti eyafudde ye Majidu Mabiriizi Sseggujja nga y’abadde omukulu w’essomero lya Namasumbi UMEA S.S erisangibwa mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono.

Mabiriizi y’akulira enteekateeka ya mwoyogwaggwanga (Patriotism) mu masomero ga ssekendule mu disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma.

Mukwanya ategeezezza nti Mabiriizi tabadde mulwadde wabula nga bwe baavudde mu kukola dduyiro ku makya n’agenda n’anaaba n’asaala nga talina wadde ewamuluma kyokka nga waayiseewo akaseera kwe kulaga nga bwe yabadde alina akantu akamusimbye ng’okugezaako okumuddusa mu ddwaliro e Kyankwanzi eriri okumpi awo okufuna obujjanjabi olwo n’afa.

“Omulambo gwa Mabiriizi gwatwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa abakugu abaakizudde nti ono omutima gwe gwalemereddwa okukola olwo ne kimuviirako okufa,” Mukwanya bw’annyonnyodde.

Ibrahim Kabambwe ng’ali ku lukiiko olufuzi olw’essomero lya Namasumbi UMEA ategeezezza ng’amawulire g’okufa kwa Mabiriizi bwe gabakubye ewala ennyo kuba ono abadde musajja mukozi nnyo abadde abbuludde ekifaananyi ky’essomero mu bbanga ettono ly’abadde yakamalayo.

Kabambwe annyonnyodde nti omulambo gw’omugenzi gwabadde gumaze okuggyibwa mu ddwaliro e Mulago ne guweebwa ab’oluganda ku Ssande olw’eggulo nga gwasuze mu maka e Ndese mu ggombolola y’e Kasawo ng’okuziika kwakubeerawo ku Mmande ku kyalo Katovu ekisangibwa e Namaliiri mu ggombolola y’emu ey’e Kasawo.

Jamiru Yiga nga ye ssentebe w’eggombolola y’e Kyampisi omuli essomero Mabiriizi ly’abadde akulembera agambye nti okufa kwe kubasadde nnyo nga bagenda kumusubwa nnyo kuba abadde musajja mukozi nnyo ng’ebbanga ery’emyaka esatu gyokka ly’amaze mu ssomero lino aliko ebintu bingi by’akoze.

Yiga anokoddeyo okuzimba ekisakaate ky’essomero, ekisulo ky’abayizi n’okutereeza eby’ensoma by’abayizi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top