Ettendekero lya Buganda Royal Institute of Business and technical Education Kakeeka Mengo, litikidde abayizi abasobye mu 1000.
Gano gematikkira ag’omulundi ogwe 17.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yakulembeddemu omukolo gw’okutikkira gano, neyennyamira olw’ettaka ly’ettendekero lino okutaataganyizibwa abagala okulyezza, ekiriremesezza okugaziwa.
Abayizi baweereddwa amabaluwa ku ddaala lya Diploma ne certificate, oluvannyuma lw’okukuguka mu masomo g’ebyemikono.
Ku bayizi 1000 abatikiddwa, ebitundu 42% bafunye diploma, ate 58% certificate.
Katikkiro abatikiddwa abawadde amagezi okusooka okukozesebwa mu mirimu egyenjawulo, basobole okufuna obumanyirivu obw’okwetandikirawo n’okuyimirizaawo emirimu egyabwe.
Ssenkulu w’ettendekero lino Omuk. Anthony Wamala, agambye nti abavubuka bangi bongedde okufuna obusobozi obwetandikirawo emirimu, so nga n’abayizi bangi amasomo g’emikono bongedde okugettanira nga beyagalidde.#