Mugisha Peter wa myaka 56 ebibala abitundira ku nguudo zomukibuga Kampala.
Mugisha agamba nti yantandika omulimu guno mu mwaka gwa 2015 era nga agumazeemu emyaka 7.
Business ye eri mu mitwalo 100,000/=
Ebibala bye abisubula mu katale k’e Nakasero.
Byafunyeemu
Asobodde okulabirira amaka ge n’okusomesa abaana be, era alina n’abaana 2 abasobodde okumalako S. 6 . Abalala balu mu S. 3 , S.4 n’asemberaayo ddala ali kibiina ekya P. 7.
Omulimu guno gumuyimirizaawo wamu ne mukyala we gwákola naye.
Ebimusomooza
Ebbeeyi y’ebintu okulenya
Ebbula ly’ebibala kubanga ebimu birabika bbalirirwe.
KCCA okubagobanga n’okukwata ebintu bye
Olunaku nga lumutambulide bulungi asobola okukola emitwalo 3 nga amagoba.
Olubajjo lwa watermelon olusookerwako lutandikira ku shs 1000/= ate ennaanansi olubajjo lutandikira ku shs 500/=.