President Yoweri Kaguta Museveni agambye nti tasobola kukkirizza ggye ly’amawanga magatte UN okujja okuwa obukuumi mu Uganda, nga bwekiri mu mawanga amalala mu Afrika.
President Museveni anyonyodde nti Uganda esobolera ddala okwekuuma bweba erina sente oba terina, nagattako nti okukumibwa eggye lya kibiina kyamawanga amagatte ki UN kivumo kyenyini.
Bino Museveni abyogedde aggulawo okulungaana lw’abalamuzi olubeerawo buli mwaka.
Olw’omwaka guno lwa mulundi gwa 24 lubumbujjira ku Mystil hotel mu Kampala.
Olukungaana luno lwakumala ennaku 4 nga lutambulira ku mulamwa ogugamba nti enkyukakyuka mu ssiga eddamuzi nekigendererwa ekyokutumbula obwenkanya.
Museveni asinzidde mu lukungaana luno nasaba abalamuzi okukozesa ensimbi entono zeyabawa okutuusa obwenkanya ku banna Uganda, nti kubanga ssente sizezigaba obwenkanya. .
Agambye nti naawatali nsimbi omuntu asobolera ddala okufuna obwenkanya.
Ssabalamuzi Owinyi Dollo asabye Museveni okwongezza ku nsimbi eziwebwa essiga eddamuzi, okulonda abalamuzi abalala, nti kubanga abaliwo mu kiseera kino batononnyo okusinzira ku muwendo gwa bannansi ogweyongera buli lunaku.