Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda akwataganye n’aba ffamire y’omugenzi Hajji Muhammad Katimbo okulaba butya bwe bakomyawo omulambo gwe ku butaka asobole okuziikibwa.
Hajji Katimbi nga musuubuzi omwatiikirivu mu Kibuga Kampala okusingira ddala mu Kikuubo aba ffamire bategeezezza Bukedde TV nga bwe yafiiridde mu ggwanga ly’e Turkey gye yabadde addusiddwa okufuna obujjanjabi obw’ekikugu oluvannyuma lw’obulwadde bwa ssukaali okumunyiikirira
Olw’eggulo lwa leero bwe tutuseeko mu maka g’omugenzi agansagibwa ku kyalo Kyungu ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono tusanzeeyo abamu ku bakungubazi okusingira ddala ab’oluganda ne baliraanwa nga bakungaanye okusala entotto butya bwe bayinza okulaba ng’omulambo gw’ono gukomezebwawo aziikibwe.
Mu bakungaanye mwe mubadde ne Minisita Minsa Kabanda atonnyonnyodde ku nkolagana ye n’omugenzi omuli okuba nga bonna bawangaalidde nnyo mu kibuga Kampala mu buweereza obw’enjawulo nga ye Minisita abeera n’okukolera mu Kisenyi so nga ye Hajji Katimbo nga mu Kikuubo gy’akolera.
Agambye nti era omugenzi yamusaba ne muwalawe n’amufumbiza mutabaniwe sso ng’era bonna bawagizi ba kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM. Kabanda agambye nti bakola ekisoboka okulaba ng’omulambo gukomezebwawo olwo okuziika kubeerewo ku Lwokubiri oba ku Lwokusatu.
Hajjati Fatuma Nabikofu, mwanyina w’omugenzi agambye nti obutafaananako n’abasajja abalala abagagga nga Basiraamu n’ensimbi zibayitaba, Hajji Katimbo abadde n’omukyala omu . Hajati Jawuhara Katimbo n’abaana baabwe musanvu Katonda be yabawa ate ng’abasomesezza n’abayigiriza n’emirimu gy’abadde akola.
Nabikofu agambye nti omugenzi abadde musuubuzi omututumufu era eyakwata ku banne bangi abaayitumuka mu Kibuga Kampala ssaako okuba nti yakolanga ogw’okutambuzanga eby’amaguzi okuva mu Kenya n’abireeta e Uganda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
“Olw’emirimu gy’abadde akola ng’alaba ekimusobozesezza okuwangaala n’ensimbi mirembe NRM gye yaleeta, ebbanga lyonna awagidde Pulezidenti Museveni n’ekibiina kye ekya NRM nga n’ensimbi aziteekamu,” bw’ategeezezza.
Bbo abatuuze bagamba nti emyaka egiwererako ddala Hajji Katimbo gy’amaze ku kitundu kyabwe, abadde mutuuze mulungi atalina mpalana ku muntu yenna.
Ibrahim Kasujja ne Rajab Ssemakula be twogeddeko buli omu amwogeddeko bubwe nga baliko ebimu by’ayambye ekyalo bye battottodde.
Asiya Tamale mwanyina w’omugenzi era omusuubuzi mu Kikuubo e Kampala agambye nti ku kyalo Kungu ewali amaka ge aliwawo ettaka eriwezaako yiika 200 n’okusoba, alinako ente, endiga, embuzi ku ffaamu z’alundirako sso ng’era azimbye emizikiti mu bitundu by’e’njawulo okuli n’oguli ku kyalo wano, e Kayunga n’essomero.