Amawulire

Okukulakulanya obutaka bw’ebika by’abaganda.

Bajjaja abataka abakulu ab’obusolya basabye bazukulu babwe okukola obutaweera okukulakulanya obutaka bw’ebika byabwe wamu n’okubangula abaana babwe ku by’obuwangwa n’ennono zabwe.

Okusaba kuno ku koleddwa Jaaja w’ekika ky’Omusu Omutaka Muyinyo Samuel Bulega Mukasa.

Omutaka Muyingo abadde aggulawo enkiiko ze’kika ky’Omusu omwaka 2023, ku mukolo ogubadde ku Woofisi zekika kyo Musu e Kasubi nga gwetabiddwako bazzukulu ba Muyingo e Ssama mu Mawokota.

Minister wa Buganda avunaanyizibwa ku Ttaka ,Bulungibwansi n’obulimi eranga muzukulu wa Muyingo Owek Mariam Mayanja Nkalubo agambye nti kino ky’ekiseera ebika byonna bibeere n’obukiiko obuvunaanyizibwa ku ttaka ly’ebika nga aka Musu Trusts okwewala amalindirizi.

Omutaka Muyingo alonze akakiiko akapya akagenda okukulakulanya Pulojekiti ya Ssama City egenda okuteekebwa ku butaka bw’ekika ky’Omusu e Ssama mu Mawookota, nga kakulemberwa Eng Ssalongo Jaggwe ,Katikiro Rubega Sadiq n’abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top