Amawulire

Maama Janet ,afulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 olwaleero.

Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Kataha Museveni afulumizza ebyava mu bigezo bya S4 olwaleero.

Minisita yeebazizza nnyo Katonda eyasobozesa abasomesa abaategeka ebigezo, abayizi ne basobola okubikola obulungi.

Wabula agambye  nti si musanyufu olw’omuwendo gw’abaana abangi abawanduka mu masomero naddala abawala. Kino kiddiridde abawala emitwalo esatu abaawanduka mu ssomero ne batamalaako. Era alagidde omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza okunoonyereza ku nsonga eno .

Minisita era mwennyamivu olw’amasomo ga  ssaayansi agakolebwa obubi naddala ku luno  essomo lya Biology lyakoleddwa bubi era alagidde  omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza okunoonyereza ku nsonga eno.

Minisita asanyuse kubanga ku lukalala n’ennimi  ezisomesebwa ku luno  kweyongeddeko Oluchina era lwakoleddwa bulungi.

Agasseeko nti minisitule y’ebyenjigiriza tejja kugumiikiriza babba bigezo era abanaakwatibwa ‘center’ zaabwe zijja kusazibwamu.

Omwaka oguwedde omugatte gw’abayizi 2022, 345,695 be baakola ebigezo, abalenzi baali 173,761ate abawala  ne baba 171,934.

Olungereza lwe lwasinze okukolebwa obulungi era  ne Physics and Chemistry  nabyo byakoleddwa bulungiko.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top