Amawulire

Uganda esindise abajaasi ba UPDF okwegatta ku ggye ly’omukago gwa East Africa.

Kyaddaaki Uganda esindise ekibinja ky’abajaasi ba UPDF okwegatta ku ggye ly’omukago gwa East Africa erya Regional East African Community standby force mu kulwanyisa abayeekera ba M23 e Congo.

Omuduumizi w’amagye g’oku ttaka mu ggye lya UPDF, Lt Gen Kayanja Muhanga  ye yasiibudde abajaasi 5,000 abaagenze okwegatta ku ggye ly’omukago ery’awamu ku mukolo ogwabadde ku nsalo ya Uganda ne Congo eya Bunagana.

Yagambye nti eggye lya Uganda libadde mu mawanga mangi gye lireese emirembe omuli Liberia, Somalia, South Sudan, Central African Republic n’walala  ne Congo era emirundi mingi bataddewo emirembe.

”Ku mulundi guno tetugenze Congo kulumba nga bwe kiri mu kikwekweto ekya operation Shuja, wabula tugenzeeyo okwegatta ku bannaffe abaatusookayo, okulaba nga tukuuma okusalawo amawanga gaffe kwe gaakola ku nsonga y’aba M23.”

Ekibinja kino ekirina obuvunaanyizibwa okukuuma abantu ba bulijjo mu bitundu ebitera okulumbibwa abayeekera ba M23  mu bitundu bya North Kivu kya kuduumirwa Col Mike Hairoba eyagambye nti bagenze e Congo okukola ng’abakumi b’emirembe n’agamba nti basajja be balina obutendeke obumala era beetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top