Amawulire

Omukazi agambibwa okufera abagagga mu Kampala kyaddaaki akwatiddwa.

Omukazi agambibwa okutalaaga mu bagagga b’omu Kampala n’abafera ssente, ku luno gwe yafeze tamuganyizza kuyinaayina, akwatiddwa n’asimbibwa mu kkooti era kati awoza ava Luzira.

Beatrice Magembe Nansubuga 46, mutuuze w’e Nsambya Central zooni mu munisipaali y’e  Makindye y’awennemba mu kkooti ya Nateete – Lubaga e Mengo ogw’okufera omugagga wa CK-Investments e Mengo n’amuggyako emmokoka ezibalirwamu obukadde 158.

Kigambibwa nti Nansubuga n’abalala abaliira ku nsiko nga December 8, 2020 ku CK-investments ku luguudo lwa Kabaka Anjagala e Mengo, mu ngeri y’ekifere yafuna ebbanja lwa lya bukadde 158 okuva eri Christopher Kizza nga mu kino yeefuula aguze emmotoka UBE 984D Toyota Land Cruiser ne UAK 171Z Toyota Hilux wabula tekyakolebwa.

Bwe yabadde awa obujulizi, Kizza yategeezezza nti omukazi ono yajja ku kibanda ky’emmotoka ze n’amutegeeza nga bw’ayagala mmotoka bbiri nti alina ssente z’asuubira okuva mu kontulakiti ze yali akoze ez’okutambuza omusenyu n’amayinja ku bizimbe mu Kampala nga zibalirwamu akawumbi kalamba naye kye yakkiriza.

Agamba nti yajja n’omusajja okuva mu bbanka emu okukakasa nti ono alina ssente ku akawunta era yamusaba akwate kaadi z’emmotoka zino azikyuse aziteeke mu mannya ge (Nansubuga) naye kye yakola era nga yakozesa obukadde bubiri.

Yategeezezza nti oluvannyuma yamukwasa ebbaasa erimu ekyapa, n’ebiwandiiko ebirala ebirimu kontulakiti ze yali agamba nti afunye okutwala omusenyu n’amayinja ku bizimbe.

Annyonnyodde kkooti nti waayitawo akaseera n’a zuula ng’ekyapa kyali kijingirire.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });