Poliisi y’e Nateete ekutte Moses Kawooya agambibwa nti aludde ng’amenya amayumba g’abantu n’okubatigomya mu Kibumbiro Zone e Busega.
Abantu bazze beekubira enduulu ku poliisi ne bamuggulako n’emisango era poliisi erudde ng’emuliimisa naye nga tebamukwata.
Poliisi y’e Nateete yakoze ekikwekweto okufuuza ababbi bonna abatigomya abantu mu budde bw’ekiro. Mu kiro ekikeesezza ku Lwokutaano, Kawooya baamuguddeko ng’alina ebintu bye yeetisse.
Bwe yalabye poliisi n’ateekako kakokola tondeka nnyuma nabo kwe kumusimbako okutuusa lwe baamukutte n’atwalibwa ku poliisi y’e Nateete. Wabula yeegaanyi eby’okumenya amayumba g’abantu n’agamba nti bamuwaayiriza.
Akulira poliisi y’e Nateete, Hassan Ssekalema ategeezezza nti abantu baludde nga beemulugunya ku bantu ababatigomya ekiro n’asaba bonna abaabulwako ebintu byabwe okugenda ku poliisi baggulewo emisango n’okukola sitatimenti.
Agambye nti Kawooya waakutwalibwa mu kkooti essaawa yonna avunaanibwe.