Amawulire

Poliisi erina byezudde ku musirikale akubye omuwozi wénsimbi amasasi.

Munnansi wa Buyindi  akubiddwa amasasi agamutiddewo ku kizimbe kya Raja Chambers ku luguudo lwa parliamentary avenue mu kibuga Kampala.

Attiddwa atanategerekeka mannya y’abadde manager wa TFC financial services kampuni empozi yénsimbi, era kigambibwa nti ensonga emuttisiza evudde ku nsonga ya loan ebadde ebanjibwa omutemu ategerekese nga Constable Ivan Wabwire, nga ono abadde mukuumi ku kitongole kino ekya TFC financial services.

Kigambibwa nti Wabwire olumaze okumukuba amasasi nálinnya bodaboda nátwala emmumdu ye nágisuula ku kitebe kya police ekya CPS mu Kampala nábulawo.

Poliisi efulumizawo ebitonotono ku byeyakazuula ku ttemu lino, eribaddewo ku ssaawa nga musanvu ezémisana.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti omusirikale wa Poliisi Ivan Wabwire ali ku ddaala lya Poliisi Constable yakubye omuntu amasasi agamuttiddewo.

Patrick Onyango wabula ategezeza nti ekivuddeko byonna kikyanonyerezebwako.

Onyango agambye nti Omusirakale ono Ivan Wabwiire abadde amanjibwa ga mirundi ebiri geyeewola  okuva nu kampuni yómuyindi ono omuwozi wénsimbi,  wakati wómyeka  2020 ne 2023.

Onyango agambye nti byebaakazuulawo biriga nti  omusirikale ono olunaku olweggulo yatuuseeko mu woffiisi ya money lender okumanya ebikwata ku bbanja lye, wabula tekinamanyika ate kimubagudde kukomawo kumukuba masasi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });