Amawulire

Abayizi ba University boggedeko Sipiika.

Sipiika wa palamenti Anita Among akubirizza abayizi okubeera n’ebiruubirirwa mu bulamu byebatekeddwa okutuukiriza mu kaseera kebabyetagiramu era babikolerere baleme kulowooza nti mu Uganda okubaako wotuuka olina kuba nga omanyiddwa omuntu mu ofiisi ennene.

Among okwogera bino abadde asisinkanye abakulembeze babayizi okuva ku Makerere University Business School wamu naaba Mt. Kenya University mu ofiisi ye ku palamenti abazze okumwebuzaako ku nsonga ez’enjawulo ezikwata ku bayizi na butya palamenti bweyinza okubayambamu okutuusa ensonga zaabwe gyebali.

Agambye nti endowooza eri bayizi ennaku zino nti emirimu kwosa n’okusoma “Internship” ku palamenti byetaaga olina akumanyi nkyamu nnyo era n’abagamba nti omuntu alina ekirooto kye, akola n’amagezi ge n’atuuka wayagala okuba kubanga bangi abafunye emirimu ku palamenti nga bajja nga bayizi.

Akulira abayizi ku MUBS Bruno Kamoga asiimye palamenti olw’emirimu gyekolera eggwanga era n’asaba nti akasiimo akaweebwa abayizi ababeera ku sikaala za gavumenti kongezebwe kubanga okwebezaawo mu bulamu obwabulijjo ku zi ssentendekero kya bbeeyi ennaku zino.

Mukumwanukula, sipiika Among ategeezezza nti ensonga bakujitunnulamu kubanga kituufu nti okwebezaawo ennaku zino kya bbeeyiko naddala eri abayizi okusingira ebeesuza.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top