Mukyala w’omusuubuzi w’erinnya e Luweero ne Nakaseke eyalwalidde ennaku ssatu afudde n’aleka ebibuuzo mu baffamire n’emikwano.
Mu kubuulira, Fr. John Mary Lukwago yasinzidde ku Klezia ya Uganda Martyrs Catholocs Parish Kiwoko n’asaba abantu okukomya okwogera ebitakwatagana nga waliwo afudde kuba teri alina buyinza ku bulamu bw’omuntu.
Anasitaziya Naluyange 24, mukyala wa Robert Katongole abadde omusuubuzi w’ebyamasannyalaze e Luweero ye yaziikiddwa e Wabicaca mu muluka gw’e Luteete mu ggombolola y’e Kikamulo mu disitulikiti y’e Nakaseke.
Era yasabye abantu okufaayo okuyonja emyoyo gyabwe okusinga okuyonja emibiri egisigala ku nsi. Omugenzi yalese abaana babiri.
John Kakooza taata w’omugenzi yategeezezza nti muwala we obulwadde obwamusse bwatandikidde mu kugulu bba Katongole n’amutwala mu ddwaaliro e Kasana ng’abasawo baanoonyerezza obulwadde ne bubula era waayise akaseera katono n’afa.