Abeebyokwerinda ku kiggwa kya Bakatoliki e Namugongo baliko omuvubuka gwe bakutte oluvannyuma lw’okumulengera ng’adduka n’ensawo y’okumugongo eteeberezebwa okuba enzibe.
Akwatiddwa ye Fred Twinomukisa 21, omutuuze w’e Malongo mu muluka gw’e Namaalo mu disitulikiti y’e Kagadi. Mu budde buno akuumibwa baserikale era ng’atuuziddwa kumpi n’ensawo egambibwa okuba enzibe.
Omuserikale ataayagadde kumwatuukiriza linnya yategeezeza nti ono okumukwata kiddiridde okumulengera ng’adduka emisinde mu kiggwa bakira nga bw’atunula buli luuyi okukakasa nga tewali amulabye.
Annyonnyodde nti ensawo ebbiddwa baasanzeemu bintu bya kisajja okuli engoye engatto n’ebirala.
Wabula, Twinomukisa ategeezezza ng’esawo naye bw’abadde agironze era nga abadde agenda kugikuuma okutuusa lw’alaba nnyini yo abeebyokwerinda kye batamukkirizza kukola. Bano balaze ensawo endala ezaalondeddwa era nga bannyini zo tebannazuulibwa.