Amawulire

President Museveni wakwogerako eri eggwanga leero.

President Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okwogerako eggwanga emisana ga leero saawa munaana, mukwogera okutongole ng’aggulawo omwaka gwa parliament, okwanjula ebituukiddwako n’okwanjula government byegenda okusaako essira omwaka gw’ebyensimbi ogujja

Ssemateeka w’eggwanga owa 1995 ennyingo 101 (1) eragira President w’eggwanga buli mwaka okwogerako eri eggwanga ng’aggulawo omwaka gwa parliament oguddako.

Mulimu okulaambulula ebituukiddwako mu mwaka ogukubiddwa amabega mu byenfuna, ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyokwerinda, ebyobufuzi n’ebirala.

Mu kwogera kwe kumu President Museveni kweyawa omwaka oguwedde 2022/2023 yalaangirira nti Uganda yaali esenvudde okutuuka mu nsi eziri yadde yaddeko mu byenfuna, middle income status,  wabula ebibalo government byeyasinziirako okulangirira omutendera ogwo, bank yensi yonna yabiwakanya nti byali bifu.

Werutuukidde olwaleero gw’omwaka mulamba gweguyiseewo,ebibalo ebituufu tebimanyiddwa nekirangiriro kino ekya Uganda okutuuka mu luse lwensi eziri yadde yaddeko mu byenfuna tekimanyiddwa wekyakoma.

Okwogera kwa President Museveni wekujidde, ng’ettemu ly’emmundu lyeyongera buli olukya.

Mu kiseera kino Uganda esika muguwa n’amawanga g’abazungu agasinga okujivujjirira obuyambi, olw’okuyisa ebbago lye’etteeka erirwanyisa ebisiyaga, lyebagamba nti lirinnyirira eddembe ly’abasiyazi.

Ensonga zino n’endala nnyingi eziruma bannansi zebasuubira nti zagenda okwogerako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top