Iran ekoze endagaano ne Uganda mw’egenda okuyita okugiyambako mu by’okusima amafuta n’okugasengejja eggwanga lisobole okugafunamu.
Bino byayogeddwa Pulezidenti wa Iran, Ebrahim Raisi ali ku bugenyi bw’ennaku ebbiri mu ggwanga obwagendereddwaamu okutumbula enkolagana y’amawanga gombi naddala mu byobufuzi, ebyenfuna n’obusuubuzi.
Ebrahim yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ne Pulezidenti Museveni mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe n’ategeeza nti obumanyirivu n’obukugu bwe balina mu by’okusima amafuta bagenda kubugabanako ne Uganda esobole okufuna mu mafuta gaayo.
Kyokka yalabudde Uganda okwegendereza amawanga g’Abazungu kuba tegaagala mawanga galina byabugagga bya nsibo. Mu birala bye yasuubiza okuyamba Uganda mu by’okukola eddagala n’okwongera ku by’okunoonyereza.
Pulezidenti Ebrahim yasiimye Uganda olw’amaanyi geetadde mu kulwanyisa ebikolwa by’ekitujju n’asaasira famire z’abayizi abattibwa abatujju ba ADF e Kasese.
Pulezidenti Museveni yasiimye obugenyi bwa Ebrahim n’ategeeza nti bwa kuyamba Uganda okukulaakulana mu bintu ebyenjawulo. Yawadde ekyokulabirako nti, waliwo amawanga ga Bulaaya agaali gamulemesa okuzimba essengejjero nga bagamba tebifuna, kyokka bwe yakyalako e Iran ne bamugamba nti balina mwenda n’aguma.
Yasabye bamusigansimbi abalala bonna okweyunira Uganda kuba nsi ya mirembe, erina eby’obugagga ntoko ng’ennyanja, amata, kasooli n’ebirala nga n’embeera y’obudde nnungi.
Olwaleero abakulembeze b’amawanga gombi bagenda kwogerera mu lukuhhaana olukwata ku by’obusuubuzi olw’okubeera ku Al-Musitafa University e Kyengera.
Pulezidenti Ebrahim buno bwe bugenyi bwe bwasoose okukyala mu Africa nga yasookedde Kenya.