Amawulire

Iran yakuyamba Uganda mu by’amafuta.

Iran ekoze endagaano ne Uganda mw’egenda okuyita okugiyambako mu by’okusima amafuta n’okugasengejja eggwanga lisobole okugafunamu.

Bino byayogeddwa Pulezi­denti wa Iran, Ebrahim Raisi ali ku bugenyi bw’ennaku ebbiri mu ggwanga ob­wagendereddwaamu okutumbula enkolagana y’amawanga gombi naddala mu byobufuzi, ebyenfuna n’obusuubuzi.

Ebrahim yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ne Pulezi­denti Museveni mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe n’ategeeza nti obumanyirivu n’obukugu bwe balina mu by’okusima amafuta bagenda kubugabanako ne Uganda esobole okufuna mu mafuta gaayo.

Kyokka yalabudde Uganda okwegendereza amawanga g’Abazungu kuba tegaagala mawanga galina byabugagga bya nsibo. Mu birala bye yasuubiza okuyamba Uganda mu by’okukola eddagala n’okwongera ku by’okunoonyereza.

Pulezidenti Ebrahim yasi­imye Uganda olw’amaanyi geetadde mu kulwanyisa ebikolwa by’ekitujju n’asaasira famire z’abayizi abattibwa abatujju ba ADF e Kasese.

Pulezidenti Museveni yasi­imye obugenyi bwa Ebrahim n’ategeeza nti bwa kuyamba Uganda okukulaakulana mu bintu ebyenjawulo. Yawadde ekyokulabirako nti, waliwo amawanga ga Bulaaya agaali gamulemesa okuzimba es­sengejjero nga bagamba tebi­funa, kyokka bwe yakyalako e Iran ne bamugamba nti balina mwenda n’aguma.

Yasabye bamusigansimbi abalala bonna okweyunira Uganda kuba nsi ya mirembe, erina eby’obugag­ga ntoko ng’ennyanja, amata, kasooli n’ebirala nga n’embeera y’obudde nnungi.

Olwaleero abakulem­beze b’amawanga gombi bagenda kwoger­era mu lukuhhaana olukwata ku by’obusuubuzi olw’okubeera ku Al-Musita­fa University e Kyengera.

Pulezidenti Ebrahim buno bwe bugenyi bwe bwasoose okukyala mu Af­rica nga yasookedde Kenya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top