Ibrahim Ssemujju Nganda yagambye nti okumugoba tekwagoberedde mateeka kuba yalondebwa lukiiko lwa National Executive Committee era lwe lumuvunaanyizibwako era terulina gye lwatudde.
“Nzikirizza okuva mu kifo wadde nga ebyakoleddwa tebyagoberedde mateeka kuba era ekifo mbadde sirina kye nkyetaaza. Kisingako okudda ebbali okusinga okukolagana n’abantu be mmanyi nti baava ku mulamwa,” Ssemujju bwe yagambye.
Omu ku bammemba ba NEC ataayagadde kumwogera mannya yagambye nti yeewuunyizza okulaba ekiwandiiko ku mukutu gwabwe ogwa NEC nga bagoba Ssemujju. Ekiwandiiko kyateereddwaayo Moses Mugisha Okwera ow’e Nakawa. Ekyakoleddwa yagambye nti kigenda kwongera kusajjula mbeera.
Ate omu ku bakulembeze b’abavubuka ba FDC, Moses Byamugisha, yalabudde omubaka Yusuf Nsibambi n’amusaba yeegendereze aleme kukozesebwa okulwana entalo ne bakulembeze banne bwe babadde batambula obulungi mu Palamenti.
Ssentebe wa FDC mu ggombolola y’e Lubaga, Fred Bugoba ne Kenedy Okello, mmemba ku lukiiko lwa National Council baagambye nti ekyakoleddwa kyongera kulaga nti ekibiina kyava dda ku mulamwa kuba erinnya !ya Nsibambi teryayisiddwa NEC nga bwe kirina okuba.