Amawulire

Nzirikizza naye temugoberedde mateeka – Ssemujju Nganda.

Ibrahim Ssemujju Nganda yagambye nti okumugoba tekwagoberedde mateeka kuba yalondebwa lukiiko lwa National Executive Committee era lwe lumuvunaanyizibwako era terulina gye lwatudde.

“Nzikirizza okuva mu kifo wadde nga ebyakoleddwa teby­agoberedde mateeka kuba era ekifo mbadde sirina kye nky­etaaza. Kisingako okudda ebbali okusinga okukolagana n’abantu be mmanyi nti baava ku mulam­wa,” Ssemujju bwe yagambye.

Omu ku bammemba ba NEC ataayagadde kumwogera man­nya yagambye nti yeewuunyizza okulaba ekiwandiiko ku mukutu gwabwe ogwa NEC nga bagoba Ssemujju. Ekiwandiiko kyateered­dwaayo Moses Mugisha Okwera ow’e Nakawa. Ekyakoleddwa yagambye nti kigenda kwongera kusajjula mbeera.

Ate omu ku bakulembeze b’abavubuka ba FDC, Moses Byamugisha, yalabudde omubaka Yusuf Nsibambi n’amusaba yeegendereze aleme kukozesebwa okulwana entalo ne bakulembeze banne bwe babadde batambula obulungi mu Palamenti.

Ssentebe wa FDC mu ggom­bolola y’e Lubaga, Fred Bugoba ne Kenedy Okello, mmemba ku lukiiko lwa National Council baagambye nti ekyakoleddwa kyo­ngera kulaga nti ekibiina kyava dda ku mulamwa kuba erinnya !ya Nsibambi teryayisiddwa NEC nga bwe kirina okuba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top