Amawulire

Banka yenssi yonna  eyimirizza okuwola Uganda ensimbi.

Bank yensi yonna eyimirizza mbagirawo okuwola Uganda ensimbi,   oluvannyuma lw’okuyisa etteeka eriwera obufumbo n’omukwano ogwekikula ekimu.

Mu may 2023, parliament ya Uganda yayisa etteeka eriwera omukwano n’obufumbo obwekikula ekimu ,mweyateeka ebibonerezo eri abantu abeenyigira mu muze guno omuli okusibwa amayisa, okuwanikibwa ku kalabba nokusibwa emyaka egiri eyo mu 20.

Abakulu mu bank yensi yonna bakinogaanyiza nti etteeka Uganda lyeyayisa lityoboola eddembe ly’obuntu.

Parliament bweyayisa etteeka lino ,ebitongole ebiwerako okwaali omukago gwa Bulaaya  European Union, bank yensi yonna, n’amawanga agawerako okuli okuli America, Canada, Bungereza n’amalala gaakolokota Uganda olwokuyisa etteeka lino.

Byasaba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni obutalisaako Mukono ,wabula yagaana era naalisaako omukono.

Abakulu mu bank yensi yonna bategeezezza nti eddimu lyabwe eddene eryokulwanyisa obwaavu nembeera embi mu nsi ,kirina kukolebwa nga buli munnansi talekeddwa mabega ewatali kusosola muntu yenna, abakulu kwekusalawo nti  ensimbi ezibadde ziwolebwa Uganda zigira ziyimirira.

Bank yensi yonna yeemu ku bitongole ebigundiivu Uganda byesinga okwewolamu ensimbi eziyamba government okuddukanya emirimu okuli okuzimba enguudo,okuzimba amasomero, okuzimba amalwaliro ,okuzimba amabibiro gamasanyalaze nebirala

Ezimu ku nsimbi zabadde yakasembayo okwewola, zaaliwo mu kiseera Ensi yonna bweyagwaamu olunnabe lwa Covid19, Uganda yaddukira mu bank yensi yonna neyeewolayo ensimbi ezikunukiriza mu trillion 2 okubbulula ebyenfuna ebyaali bikoseddwa omuggalo

Minister webyensimbi Matia Kasaija agambye nti bakyetegereza ebisaliddwawo bank y’ensi yonna basalewo ekiddako.

Bank yensi yonna okuyimiriza okuwola Uganda ensimbi kijjidde mu kiseera ngembalirira y’omwaka 2023/2024 kyejje etandiike nga ya trillion 52 ,wabula ettunduttundu eriri eyo mu trillion 20, zakwewolebwa okuva wano mu Uganda endala zisuubirw kuva mu bitongole byensi yonna ebiwozi by’ensimbi nga wold bank n’ebirala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top