Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 31.
Emikolo giri ku mbuga enkulu ey’Obakabaka mu Bulange e Mengo.
Okuggulawo olukiiko gy’egimu ku mikolo emitongole mu Bwakabaka, gukolebwa buli luvannyuma lw’Amatikkira era yebeera entandikwa y’Omwaka gwa Buganda.
Nnyinimu Ssaabasajja emyaka gyonna gy’asiimye okuggulawo Olukiiko azze alambika abantube ku nsonga ezenjawulo omuli ezo ezikwata ku nkozesa y’Ettaka n’Obwananyini bwalyo obutaliiko kunyigirizibwa, kko neeryo ery’Obwakabaka, okulambika enkola y’emirimu n’ebirala.
Olukiiko lwa Buganda lukubirizibwa Owek Patrick Luwagga Mugumbule amyukibwa Owek. Ahmed Lwasa.
Mu kuggulawo olukiiko luno olwa 31, Empologoma yasiimye ba minister abaggya abaaweereddwa Obuvunaanyizibwa obwenjawulo bakweyanza Obwami,
Okuli Owek. Anthony Wamala, n’Owek. Kazibwe, Owek. Cotilda Nakate.
Abaami b’Amasaza wabweru wa Buganda ne Uganda nabo bakweyanza Obwami mu lukiiko luno era bawere mu maaso ga Nnyininsi.