Amawulire

Mickie Wine akooye okukweka muninkini we Kemigisha.

Omuyimbi Mickie Wine akooye okukweka muninkini we omupya Pauline Kemigisha, n’agamba nti omukwano gw’alina gyaali gumusiiwa nga akaddaliddali era abaagalana bano beesunga mwana owookubiri.

Mickie ng’amatuufu ye Micheal Mukwaya yakikkaatirizza nti ng’omusajja ow’obuvunaanyizibwa, yawulira obwetaavu bw’okugenda mu maaso n’obulamu oluvannyuma lw’omukwano gwe yalina ne Shazney emabegako obutagenda bulungi.

Yagambye nti anywerera ku mpisa ze yakuzibwa nazo ng’Omuganda era akkiririza mu bulamu bw’okubeera n’omubeezi.

“Ndi musajja muganda, era nga Abaganda okubeera n’obuvunaanyizibwa kintu kikulu nyo. Siyinza butabeera na mubeezi kubanga ekyo tekikwatagana na ngeri gye nnakuzibwamu. Kale, nfunye anjagala ate nga nbange mwagala nnyo,” Mickie Wine bwe yategeezezza mu mboozi ey’akafubo ne ttivvi y’omu kitundu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top