Amawulire

Abadde ateekateeka akabaga k’amazaalibwa ge affudde!.

 

Omuwala abadde ateekateeka okujaguza amazaalibwa ge ku Mmande lwe yafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Gayaza  n’aleka omwana ow’e myaka 7 .

Claire Nanyonga 24 abadde omutuuze w’e Kazo West mu minisipaali y’e Kawempe ng’abadde akola gwa kukuba bifaananyi ku mikolo, ye yafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Gayaza  mu kiro ekyakeezezza ku Mmande,  omugoba w’emmotoka ekika kya Subaru UBL 330M mwe yabadde  bwe yeekanze Loole nnamba UAN 737 Z eyabadde efiiridde mu kkubo .

John Muwanga, omu ku baabaddewo yagambye nti owa Subaru yabadde ava ku ludda lw’e Gayaza ng’edda Kampala  ng’eri ku misinde egya yiriyiri bwe yatuuse ku mayiro  9 ng’ayingira Kasangati waabaddewo loole  eyabadde efiiridde mu kkubo gye yakoonye .

Mu mmotoka mwabaddemu abantu basatu  Nanyonga n’abasajja babiri  nga Nanyonga yabadde atudde mu maaso  ng’ono yafiiriddewo, ababiri ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’embeera mbi.

Eunice Kamya 59, Jjajja w’omugenzi omutuuze w’e Kawempe mu Kikoni C ategeezezza nti  bazadde ba Nanyonga bombi baafa, ng’okutegeera okufa kwe baamukubidde essimu ku ssaawa 8:00 ez’ekiro ku Mmande.

Omugenzi waakuzikibwa leero ku kyalo Kiryamulondo mu Disitulikiti y’e Luweero.

Sophia Nakaliisa muganda w’omugenzi, agambye nti omugenzi be yabadde  nabo gy’abadde mikwano gye ng’aba famire baabadde tebagimanyi nabo baafunye mawulire nti afiiridde mu kabenje.

Nakaliisa yategeezezza nti omugenzi olunaku lwe yafudde lwe lunaku lwe yazaalibwako ng’abadde ateeteeka kabaga ka kulukuza  ku Mmande .

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top