Amawulire

Abagambibwa okubba piki-piki asindikiddwa e Luzira.

Abasajja babiri basindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga May 5, 20223 ku bigambibwa nti benyigira mu bubbi bwa Bodaboda bbiri.

Isaac Mutebi 45 mutuuze w’e Nakirebe mu Mpigi ne Musa Nsimbe 34, makanika abeera Nateete mu Lubaga be basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo Omulamuzi Amon Mugezi n’abasomera omusango gw’okubba ekidduka.

Kigambibwa nti nga March 18, 2023 e Mutundwe ku kyalo Wabiyinja bano beekobaana ne babba Pikipiki Bajaj Boxer UFB 894E eya Mansoor Mugerwa ebalirirwamu obukadde 5,000,000 ne UFB 298M eya Enock Muhwezi nga eno ya bukadde 3,500,000.

Omusango baagwegaanyi wabula olw’okuba tebaabadde na babeyimirira, omulamuzi Mugezi yabasindise e Luzira okutuusa omusango lwe gunaatandika okuwulirwa.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top