Amawulire

Abakugu balaze obulwadde obwasse Kuraishi Nsamba owa New Vision.

Abakugu bannyonnyodde ekyavuddeko munnamawulire wa Bukedde Kuraishi Nsamba okufa.

Omubiri gwa Nsamba gwekebejjeddwa ttiimu y’abasawo abakugu ab’omu ddwaaliro e Mulago nga beegattiddwaako abaffamire basatu okwabadde ne kitaawe Hassan Nsamba. Wabula ono yatendewaliddwa n’afuluma eggwanika olw’ensisi.

Omu ku baffamire eyabaddewo ng’omulambo gwekebejjebwa, yalombojjeredde abakungubazi abaakuhhaanidde mu maka ga Nsamba e Ndejje – Kanyana mu munisipaali ya Makindye – Ssaabagabo abakugu bye baazudde.

Yagambye nti abakugu baasoose kubabuuza oba Nsamba abadde n’obulwadde bwonna obumanyiddwa olwo ne balyoka batandika okwekebejja ebitundu bye eby’enkizo okwabadde ensigo, ekibumba n’omutima era ne kizuulibwa ng’ekibumba kiriko amazzi ate ng’ekitundu ky’omutima ku ludda olwa ddyo kizimbye okusinga bwe kirina okubeera ku muntu omulamu obulungi.

Baazudde nti emisuwa egitambuza omusaayi okuva mu bitundu by’omubiri okugutwala ku mutima gyabadde gyazibikira ekyavuddeko omutima okuzimba n’afuna obulumi obwamuleetedde okutandika okulogootana n’okwogera ebitakwatagana.

Abakugu baayongeddeko nti embeera eno omuntu bw’agifuna ereetawo okutya era nga kino kye kyatuuse ku Nsamba n’atuuka n’okwekandaga n’ava mu ddwaaliro we yasoose okuddusibwa.

Baagambye nti Nsamba teyazuula mu budde nti alina obuzibu ku mutima ekyavaako omusuwa okuzibikira olwo omutima ne gukuhhaaniramu omusaayi nga tegufuluma, sso ng’omutima okukola obulungi, oludda olumu bwe luyingiza omusaayi ogulimu empewo ey’obulamu (Oxygen), olwo omutima ne gugusindika mu bitundu by’omubiri ate ne gukuhhaanya ogukozeseddwa okudda mu mawuggwe ne gufuna empewo ey’obulamu.

Bannyonnyodde nti kyabadde kizibu eri abasawo abaabulijjo abatalina bukugu mu bya mutima okuzuula ekizibu kino.

Baasabye abantu bonna ababadde n’okubuusabuusa ku kyavuddeko Nsamba okufa okuba abamativu ne lipoota eno nga bwe balinda lipoota enzijuvu esuubirwa okufulumizibwa mu bbanga lya wiiki bbiri.

Ebigambo bya bano byayongedde okukkaatirizibwa mukwano gwa Nsamba gwe yasembyeyo okubeera naye ku Lwokubiri nga tannafa Hajji Sadi Yusuf Mayaye, nnannyini wooteeri ya Tahill Foods e Makindye Nsamba we yabadde.

Ono yagambye nti, babadde bombi ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi k’Olwokubiri ng’alina akatambi k’amulaga nga bwe baseka, wabula waayise akaseera katono ekintu ne kimukwata ku mutima nga bwe kimusika.

Yakubidde omuntu okuleeta emmotoka batwale Nsamba mu ddwaaliro kyokka ng’entuuyo zimuyitamu ekyayongedde okumutiisa.

“Yangambye nti, kojja nsonyiwa byonna, n’ayita mukyala wange Amina, n’amukwasa ensawo omwabadde kkamera ye. Nalabye embeera yeeyongera okutabuka kwe kumuddusa mu ddwaaliro lya Makindye Medical Centre, wabula nabadde nkyali ku ssimu, abasawo ne bampita nti omulwadde gwe ndeese afulumye. Namukkakkanyizza n’angamba mutwale mu ddwaaliro lya AAYAN LIFE CARE mu Ndeeba we yafiiridde nga yaakatuusibwawo.”

Okuziika kwetabiddwaako eyali Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa eyakubirizza abantu bulijjo okubeera abalongoofu n’okwebuulirira ku kaseera k’okufa.

Yayogedde ku Nsamba ng’abaddde omwetoowaze era awa buli omu ekitiibwa, n’agamba nti abantu abamu bafa ne babulwa ababoogerako era ne yeebaza aba Bukedde olw’okumulera.

Hannington Muluuta, atuukirwako amawulire ga Bukedde TV abadde mukama wa Nsamba yagambye nti akoze ne Vision Group okumala emyaka 12.

Richard Kayiira Ssaalongo akulira Bukedde ttivvi yagambye nti, “enfa ya Nsamba kya kuyiga gye tuli ffenna.” Yamwogeddeko ng’omukozi abadde ow’enjawulo kubanga emikutu gyonna abadde agiweereza era omukozi awa abantu ekitiibwa ate asunsula by’ayogera.

Yaziikiddwa ku Lwokusatu mu limbo y’Abasiraamu e Nkoowe ku luguudo lw’e Hoima.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top