Amawulire

Bamusse ne pikipiki ne bagyokya.

Abatuuze ku kyalo Kazinga ekisangibwa mu Town Council y’e Kyengera batwalidde amateeka mu ngalo ne batta omuvubuka gwe babadde bateebereza okuba omubbi ne pikipiki kw’abadde atambulira ne bagikumako omuliro n’esaanawo.

Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero wabula okusinziira ku batuuze, omuvubuka ono abadde atera okulabwako mu kitundu ky’omu Kinaawa wabula nga tamanyiddwa mannya ge ne gy’asula.

Godfrey Kiwalabye, omu ku batuuze ategeezezza nti obumenyi bw’amateeka mu kitundu ky’e Kazinga buli lunaku bweyongera kyokka n’asaba abakulembeze okufuba okulaba nga bawandiisa abantu bonna be bakulembera mu bitundu byabwe .

Matia Kaggwa, ng’ono ye kkansala atwala ekitundu kino ategeezezza BUKEDDE nti agenda kukwatagana ne poliisi y’omu kitundu okuzuula ebituufu ebikwata ku muvubuka ono nti kuba abadde atera okubeera mu Kinaawa kyokka n’avumirira ekikolwa ky’okutwalira amateeka mu ngalo ekyakoleddwa abatuuze.

Kaggwa asabye poliisi naddala mu bitundu by’e Kyengera okubongera obukuumi nti kuba kumpi buli lunaku olukya wabaawo ettemu erikolebwa mu bitundu bino eby’e Kyengera.

Amyuka omwogezi wa poliisi, Luke Owesigyire ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku nsonga eno kyokka n’asaba abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.

Oluvannyuma poliisi okuva mu Kyengera ezze n’eggyawo omulambo gw’omuvubuka ono ne gutwalibwa e Mulago okugwekebejja.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top